LUGANDA
BISILLAHI AL-RAHMAANI AL-RAHIM
Anti Ahmadiyya Movement in Islam
OKUKONTANA KW'EBIWANDIIKO BYA
MIRZA GHULAM, OMU KADIYANI
BIWANDIIKIDDWA
Dr. Rashid
Doublethink…….. eno y'enkola engazi ey'okuwubisibwa nga ‘amagezi ag'ekibbibbi
(George Orwell).
Doublethink "ky'ekilowoozo ekirimu okukkirizisa n'obulimba okukontana ennyo
ebissukkiridde, naddala ng'oli abikozesa ng'akakodyo k'okwegulumiza".
(The American Heritage ® Dictionary of the English Language, third edition.)
Mirza Ghulam omu kadiyani, ye mitandisi w'ekibiina ekiyitibwa AHMADIYYA MUSILIM MISSION. Ey'epaatikako okubeera ng'azza obupya obusiraamu, era ne yeyita Nnabbi wa Katonda, wamu n'okubeera nti yeeyita Masiih eyalganyisibwa. Mu biseera by'obulamu bwe yawandiika ebitabo 80 ebituyambye ennyo okuteeka ku bikukujju empisa n'embeera z'omusajja eno ebizze bikusikibwa. Mu katabo kano ng'enda okwanika ebimu ku bigambobye ebyo ebikontana bye nzize nsomako mu ebyo ebiwandiiko bya Mirza Ghulam omu kadiyani. Wabula, nga sinnaba kukola ekyo, kansooke okusaba abasomi musome ebiwandiiko bino wamanga ebimu ku ebyo bye nkoppye okuva mu bitabo eby'enjawulo eby'awandiikibwa omu kadiyani Mirza, bitusobozese okulamula omusajja ono nga tukozesa ebiwandiikobye byennyini.
OKULAMULA KWA MIRZA KU KUKONTANA
"Ebiwandiiko by'omulimba biteekwa buteekwa obubamu ebikontana".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky'aba kadiyani ekiyitibwa:
Zamima Braheen –e-Ahmadiyya ekitundu 5, Roohani Khazain vol. 21p. 275)
"Ebiwandiiko by'omuntu ow'amazima era omutegeevu te biusobola kubaamu
kukontana kwanna n'akamu. Ddala kituufu, singa omuntu yenna abeera mulalu
oba nga tategeera oba singa omuntu oyo abeera n'obunnanfuusi obw'okumala
gawanawana muntu n'okukkirizakkiriza, ebiwandiikobye butelevu
biteekwa okukontana."
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa :
Sat Bachan, Roohani Khazain vol. 10 p. 132)
"Omuntu yenna omugezi era omutegeevu tasobola kubeera
ng'akkiliriza mu nzikkiriza bbiri ez'enjawulo". (Bino bikoppeddwa
okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa:
Roohan i Khazain vol. 3 p. 220)
Kakati ate ka mbatunuzeeko ku ludda olulala, olw'ebyo ebiwandiikobye, bibeere ebyokulabilako ku bimu ku ebyo ebikontana:
OBULOMBOLOMBO N'EMPISA Z'ABA MIRZAIEE
OKWEWANAWANA KW'OKWERAGA
- - "Katonda yennyini ye yasindika omubaka we omwetowaze ono, ow'empisa ennungi." (Bino bikopeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vo. 17 p. 426)
- - Kale nze ssi yanukulangako muntu yenna nga nkozesa olulimi oluvuma. (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 19 p. 236)
- - "Okukolima ssi nkola ya SIDDIQ (omwogezi ow'amazima). Omukkiriza takolima". (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 3, p. 456)
Naye go amazima ge gano:
Mirza Ghulam bwe yali nga ayanukula omu ku abo ab'amuwakanya, yagamba bwati:
"Owange ggwe musayi mutabule, omu nyoomoofu! Khabees! (omubi ennyo) omulabe wa Allah ne Nnabbi! Okoze ekikolwa kino eky'aba Yudaya nga ky’eky'okukyuusakyuusa mu bubaka (obu Nnabbi), kino kisobozese eky'amagero kino ekinene ekya Nnabbi (S.A.A.W) okukusikibwa eri ensi…wooo! Obulimba bwo bwoleseddwa… okusinziira ku bigambo bino, Ddala abasiru bano bategeera amakulu g'ebigambo bino? Abange mmwe aba Morons! Ba muzibe! Ekiswaaza kya Molviyat!…nnaddala omutwe gw'aba Ddajjali, Abdul Haq Ghaznavi n'ab’agoberezibe; emirundi enkkumi n'enkkumi ez'ebikolimo okuva ewa Allah biyinza oku bakkako. Yii! ggwe Ddajjali omukyaafu! Obubaka bw'atuukirizibwa naye obukuusa bukuzibye amaaso"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Zamima Anjam-e-Atham, Roohani Khazain vol. 11 p. 330)
Mirza bwe yali ayanukula Hazrath Mehr Ali shaho, omu ku abo abaali bamuwakanya, yayogera ebigambo bino; " Omulimba ggwe, Khabees (Omubi ennyo) aluma ng'essalambwa. Obutuuze bwa Golra! Ekikolimo ekya Katonda kikke gy'oli. Ofuuse eky'enyinyalwa olw'okukolimirwa." (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyibwa: Roohani Khazain vol. 18)
"Abalabe bange (ategeeza Abasiraamu) bafuuse embizzi ez'omunsiko era n'abakyaala baawe kati babi nnyo okusinga embwa enkazi".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain vol. 14p. 53).
Kati ate ddamu asoma bino:
"Kale nze ssi yanukulangako muntu yenna nga nkozesa olulimi oluvuma."
(bino bikkoppedwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazin vol.19 p.236)
"Katonda yenyini ye yasindika omubakawe omwetowaaze ono. Ow'empisa n'enneyisa ebirungi
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazin vol.17 p.426)
"Okukolima ssi nkola ya SIDDIQ (Omwogezi w'amazima) omukkiliza takolima
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazin vol.3 p.456)
Mirza Ghulam – Amazima gawakanya obulimba.
NZE SSI SOMESEBWANGAKO.
· · "Mahdi tayinza kubeera muyizi wa muntu yenna. Ndayira nti eno y'embeera yange yenyini. Tewali ayinza kuleeta bujulizi nga bulumiriza nti eriyo omuntu yenna eyansomesa Qur'aani".
· · (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa; Roohani Khazain vol. 14p. 394).
BANO BE B’ANSOMESANGA:
· · "Bwe nnaweza emyaaka kkumi (10) egy'obukulu b’andetera omusomesa ow'oruwarabu ng'erinnya lye ye Fazal Ahmed…….era bwe nnaweza wakati w'emyaka 17-18 egy'obukulu nasomesebwa omulala eyali ayitibwa Gul Ali Shah kitange gwe yajja e Kadiyani".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 13p. 180).
· · "Bwe nnaweza awo wakati w'emyaaka 6-7 egy'obukulu, omusomesa omuFarsi bamuwa omulimu ogw'okunsomesa Qur'aan entukuvu…..era erinnya lye yayitibwanga Fazal Llahi".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 13p. 180).
NZE SIRI NNABBI:
· · "Kiyinzika kitya okukkirizika nti n'eyita Nnabbi era nnenva n’okuva mu busiraamu okwegatta ku kibiina eky'aba kaafiri?"
· · (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 7 p. 297).
· · "Kisoboka okubeera nti omuntu omuzuuzi afafaganiddwa bw'atyo, eyeepaatiika ku bwa Nnabbi era n'obubaka, okukkiliriza mu Qur'aan okukkiriza aya egamba bweti:
'Wa laakin-Rrasulallahi wa khatama Nnabiyyini' nga bigambo bya Allah, ayinza okugamba nti nze ndi mubaka oba Nnabbi oluvannyuma lwa Nnabbi S.A.A.W?"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Anjame Atham, Roohani Khazain vol. 11p. 297).
· · Nze Sepaatikangako ku bwa Nnabbi era siri awakanya eby'amagero,oba awakanya ba malayika era awakanya n’ekiro eky'amagero ….era nze siri eyeyita omusika wa syedna wa maulama Muhammad S.A.A.W, era Khaatamul Mursaliin. Omuntu yenna eyeyita Nnabb era eyeyita omubaka, mubala okubeera omulimba era omu kaafiri".
· · (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Tableeghe Risalat vol. 22, collection of Advertisements vol 1 p. 230).
NZE NDI NNABBI
· · "Ndayira erinnya lya Katonda oyo awaniridde obulamu bwaange mu mikono gye. Ye yantuma era n'ampa erinnya ly'obwa Nnabbi era n'antuma nga Masiih eyalaganyisibwa".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Tatumma Haqeeqatul Wahyi, Roohani Khazain vol. 22p. 503).
· · "Katonda ow'amazima yoyo Katonda eyatuma omubakawe e Kadiyani"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Dafa al Bala p. 11, Roohani Khazain vol. 18p. 231).
SSI NZE MASIIH EYALAGANYISIBWA
· · "Nze sepaatikangako ku bwa masiih Ibn Maryam era oyo yenna annumika ekigambo bwe kityo, abeera mulimba era omuzuuzi owa Nnamaddala".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Izala-e-Auham, Roohani Khazain vol. 3p. 192).
NZE MASIIH EYALAGANYISIBWA
· · "Nnangilira nti nze Masiih eyalaganyisibwa, oyo ebitabo ebitukuvu byonna ebya Katonda gwe byalangilira nti agenda kujja mu nnaku ezisembayo".
· · (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 17p. 295)
· · "Ndayira erinnya lya Katonda nti ekikolwa eky'obuzuuzi mu ddiini mulimu gw'abo abakolimire. Katonda yatuma nze nga masiih eyalaganyisibwa"
( Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky'aba kadiyani ekiyitibwa: Collection of Advertisemen of Mirza Ghulasm vol. 3p. 435).
OLULIMI LWA ILHAM
· · "Kino kya busiru era ekitategerekeka nti olulimi oluzaliranwa olw'omuntu lulala ate obubaka obumukkako ne bubeera mu lulimi olulala lw'atategeera na kutegeera, kubanga mukyo mulimu obuzibu. Era mugaso ki ogw'obubaka bwe butyo nga tebuutegeerwe Bantu"
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Chashma-e Ma'arifat p. 209, Roohani Khazain vol. 23p. 218).
· · "Kino kyewuuyisa nnyo nti obubaka obumu bukka kunze mu nnimi ezo ze ssitegelera ddala ng'olungereza, olu Sanskrit oba olu Yudaya n'enddala.
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Nuzoole-e-Maseeh p.57, Roohani Khazain vol. 18p. 435).
· · "olwensonga nti mu wiiki eno waliwo essuula ezimu ezikkidde mu lulimi olungereza wamu n'enddala era ne wankubadde ezimu kuzo z'abuuzibwa (? Zavvunulwa) omuvubuka omu Hindu, naye nga tekimatiza, era ng'obubaka obumu bwavvunulwa Allah, essuula ezimu zisuubirwa okubeera nga zaali mu lulimi oluyudaya. Ezo zonna zisanidde zinonyezebweko era zinyonyolwe………..amangu ddala nga bwe kisoboka. zinyonyoke, ate mu mpandiikire nga muntegeeza mu ngeri esomeka amangu.
· · (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Letter of Mirza Ghulam Qadian (kadiyani) to Mr. Mir Abbas Ali Shah, Maktoobaat-e- Ahmadiyya- Collection of letters of Mirza Ghulam, vol. 1p. 68).
Subuhaan-Allah! Mulabe ebizibu eby'atuuka ku musajja eyagamba mbu yalondebwa Katonda!!! Ng'amussaako obubaka mu nimi ez'enjawulo ate nga bambi Nnabbiwe tazitegeera, ekyo bambi ate ne kimuwaliriza okweebuuza ku muvubuka omuHindu!!!
KANO KETEGEREZE: Mir Abbas Saheb ye yali Mureed eyasooka owa Mirza Ghulam omu kadiyani, oluvanyuma lw'okwelabirako n’agage ebintu ebifanana bwe bityo nga biva mu muntu gwe yali akakasa nti yali Nnabbi, yasalawo n'ayabulira Mirza n'asiramuka. Ebikwata ku ye ebisingawo genda obisome ku lutaambi lwa intaneti luno: (http://alhafeez.org/rashid/abbas.htm)
· · "Ebiwandiiko by'omulimba biteekwa buteekwa okubamu ebikontana".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Zamima Braheen –e- Ahamdiyya ekitundu 5, Roohani Khazain vol. 21p. 275).
· · "Ebiwandiiko by'omuntu ow'amazima era omutegeevu tebisobola kubaamu nakukontana kwonna n'akamu. Yeee ddala kituufu, singa omuntu yenna abeera mulalu era ng’alimu n'obunnanfuusi era nga yye amala gawanawana muntu n'okumala gakkirizakkiriza, ebiwandiikobye buterevu biteekwa okukontana".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Sat Bachan, Roohani Khazain vol. 10p. 13)
· · "Omuntu yenna omugezi era omutegeevu tasobola kubeera ng'akkiliriza mu nzikkiriza biri ez'enjawulo".
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky'aba kadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain vol. 3 p.220).
Kakati nsaba abasomi bange okubeera abeddebe okwesalirawo era n’okulamula Mirza Ghulam omu kadiyani nga musinziira ku bigambobye byennyini. Mulimba oba mulalu? Tategeera? Oba mu Nnanfuusi?
Wasaalam eri abo bonna abanoonya hidayah
Dr. Syed Rashid Ali
P.O.Box 11560
Dibba, Al-Fujairah
United Arab Emirates
rasyed@emirates.net.al
http://alhafeez.org/rashid/