AlFatwa No 3

Bismillah Al-Rehman Al-Raheem

ALFATWA     International    No.3

        AB’EMIKWANO ABASOMI BANGE,

ALHAMDULILLAH  KATI GIWEZE EMYAKA ESATU BUKYA KIBIINA KINO EKYA  ANTI AHMADIYYA MOVEMENT (AAM) KIRANGIRIRA OKULWANYISA N’OKUKUFUFUGAZA OBU AHMADIYYA oba OBU KADIYAANI NGA KIYITA MU KATABO KANO (AKAYITIBWA ALFATWA).

 

      NAKATI KAKYAGENDA MU MAASO N’OKWANJARA OBUKUKU BWONNA -OBUSIIGIDDWA  AKAZIGO, OBWEDDIINI EY’OBU AHMADIYYA,ABEYITA MBU BASIRAAMU. OLW’OKUSAASIRA KWA ALLAH OBUBAKA BWAFFE BUSOBODDE OKUSAASAANA NE BUTUUKA MU BULI KASONDA K’ENSI YONNA. BAGANDA BAFFE ABASIRAAMU WONNA WEBALI KATI BATANDISE OKUGENDA NGA BATEGEERA N’OKWEKKANYA OBUKODYO BUNNAMUTTA OBUKOZESEBWA ABANTU B’EDDIINI Y’OBU- AHMADIYYA. NGA BERIMBIKA MU DDIINI Y’OBUSIRAAMU. TWEBAZA NE SSEKWEBAZA  ABO BONNA ABAYAMBA MU NGERI EZ’ENJAWULO OLW’OKUTUSOBOZESA OKUSAASAANYA AMAWULIRE GANO.

 

        MIRZA GHULAM AHMAD NGA ONO YEYATANDIKAWO ENZIKKIRIZA Y’OBU AHAMADIYYA N’AKIWAGANYIKA MU BUSIRAAMU KATI ENSI YONNA EMUMANYI BULUNGI NTI SI MUSIRAAMU ERA MUKAAFIIRI.ENSI YONNA EMANYIDDE DDALA ENZIKKIRIZA ENO EY’EKIKAFIIRI BWE YALI. OLABA N’ABAMU KU BA AHMADIYYA/ABA KADIYAANI  KATI NABO BAZIBUSE AMAASO KU BULIMBA BWE YAWAGIKA MU BUSIRAAMU! WABULA BANYIIGA NNYO BW’OBAYITA ABAKADIYANI- EKYO KYOKKA KIKULAGA NTI WALIWO OBUBI OBUKWEKEDDWA MU NZIKKIRIZA YAABWE. NEWANKUBADDE AB’EhhAANDA ZABWE OBA EDDIINI YABWE, N’EBIRARA BIGEZAAKO OKUBAKUUMIRA AWAMU MU DDIINI YABWE OBUTASSATTULUKUKA.

BAWABYA N’OKUWUBISA ABANTU NGA BABALOWOOZESA NTI NABO BASIRAAMU ABASUNNI SONGA BAMBI SI BASIRAAMU- OLWENSONGA NTI ABAHAMADIYYA NABO BALINA NNABBI WABWE (MIRZA GHULAM AHMAD) ERA BALINA EKITABO KYABWE EKITUKUVU (BRAHEEN AHMADIYYA), BARINA ENZIKKIRIZA YABWE (EYOBU AHMADIYYA), BARINA EKIBUGA KYABWE EKITUKUVU (RABWA EKYE KADIYANI) ERA FFE TUBAWA AMAGEZI EDDIINI YABWE BAGIWE ERINNYA EDDALA ERITALI LYA BUISLAAM, TUBAKAKASA NTI TUJJA KUBA NABO MIREMBE NGA BWE TULI ERI AB’AMADDIINI AMALALA NGA   ABAHINDU, ABAKULISTAAYO, ABAYUDAAYA, ABABAHAI, N’ABALALA N’ABALALAL!!!

 

        EKIBIINA EKIRWANYISA OKUSAASAANA KW’OBU AHMADIYYA KIZZEEMU NATE OKUSOOMOOZA MIRZA THAIR AHMAD KADIYANI, NGA ONO KATI YE MUKULEMBEZE OWO KUNTIKO OW’EKIDDIINI EKYO TUSISINKANE TUKOLIMIRAGANE. FFE TULAYIRA MU LINNYA LYA ALLAH NTI JAJJAWE, NGA YEYATANDIKAWO OBU AHMADIYYA, YAVVOOLA NE SSEKUVVOOLA YENNA NNABBI WAFFE (S.A.A.W.) NE QUR’AAN ENTUKUVU ERA FFE TUGAMBA NTI KALE BWABEERA NGA YEKAKASA BYAKKIRIRIZAAMU ALANGIRIRE NGA BW’ALAYIRA ELINNYA LYA ALLAH AWO MU MUZIKITIGWE OGULI KU LUGUUDO OLUYITIBWA: GRESSENHALL ROAD, LONDON,KU PLOT 16, NGA NAFFE WEETULI NGA AGAMBA NTI,: MIRZA GHULAM AHMAD TAYOGERANGAKO KIGAMBO KYONNA YADDE OKUKOLA EKIKOLWA KYONNA KIVUMA OBA EKIVVOOLA QUR’AAN NE NNABBI (S.A.A.W.). WABULA, YALI  MUWEEREZA OMWESIMBU. ERA BWANEBALANKANYA, NE YEWALA OKUKOLIMIRAGANA KUNO, EKYO KINAABA KITEGEEZA NTI KYONGEDDE OKWOLEKA,OKUKAKASA, N’OKWANJARA OBULIMBA BW’ABA  AHMADIYYA  N’OBWOMUTANDISI W’EDDIINI EYO.

 

       EBYAFAYO BYA MIRZA KADIYANI MU BUFUNZE

Bino wamanga by’ebigambo eby’afulumanga  mu kamwa k’oyo  eyeyitanga Nnabbi.

Yasooka n’agamba bw’ati,:

 

“YYE”! YE KATONDA EYASINDIKA OMUWEEREZAWE, OMWETOWAAZE, N’OBULUhhAMU, N’EDDIINI…. N’EMPISA Z’OBUGUNJUFU”

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky’Abakadiyani ekiyitibwa; Roohani Khazain, omuzingo 17 empapula: 35-36 Ekyawandiikibwa, Mirza Ghulam Ahmed).

“Embeera zange teziyinza kutuukawo ku kino; eky’okwogera ekigambo kyonna ekivuma nga kifubutuka mu kamwa kange”

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky’Abakadiyani ekiyitibwa; Roohani Khazain, omuzingo 4  olupapula: 320)

Naye Abakadiyani babiri bwe battibwa ku kalabba mu nsi ya Afghanistan olw’okuyigiriza nga bawakanya jihad, n’alyoka a*****umula ebigambo ng’abyolekeza eri Abafghani/Abapanthasi/Abakandharisi. Tewaliyo kigambo kitaayogerwa nga abavuma,: yabayita Abayudaaya era nti balina endowooza nga ezaabwe olw’ensonga zino:

·        Baagambibwa ba Jajja baabwe nti baava mu Bayudaaya

·        Bw’oba abatunulidde mu byenyi byabwe, bafananira ddala Abayudaaya era singa obayimiriza awamu, babeera ng’abaava mu nnyumba emu;

·        Enyambala yabwe efananira ddala ey’Abayudaaya;

·        Eby’obuwangwa byabwe bifanana n’ebyo eby’Abayudaaya. Okugeza nga, abawala babwe :bwe babeera nga tebannaba kufumbirwa beetaaya kyere ne baganzi baabwe ne batuuka n’okubeera nti ne bwe bafuna embuto bo besekera bwesekezi.

·        Okwetaaya ekyere okwa Hadhrat Maryam Siddiqa ne muganziwe Yusuf Najjar ako kabonero akakasa eby’obuwangwa bino.

·        Ensanyuka n’enyiiga zaabwe bifaana n’embeera z’Abayudaaya: Obutaba na mpisa, okunyiiganyiiga amangu, okwefaako bokka, okwagala okuyiwa omusaayi, okuyombayomba n’obutaba beesimbu nga mw’otwalidde n’empisa endala envundu nga endowooza ez’obutemu, obutasoma, n’obutamanya bye byo byenyini abantu bo kunsalo Abapathani/ Abafghani n’Abakashimiri  bye balina nga bwe byawandiikibwa mu ndagaano enkadde n’ebitabo ebirala eby’aba Israeli.

·        Singa osoma ku nneyisa, embeera z’obulamu ez’aba Bani-Israel mu Surat-ul Baqarah mu Qur’aan oyinza okulowooza nti yali eyogera ku Bantu bo kunsalo Abafghani/Abapathani. (Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky’Abakadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain, omuzingo 14  olupapula: 300)

 

EDDIINI Y’ABA AHMADIYYA-

 

                                        BALABE BA BUSIRAAMU NE PAKISTAN

 

         Eddiini y’Abakadiyani/Abahmadiyya ekyagenda mu maaso n’ebikolwa byayo eby’obunnanfusi eri Obusiraamu mu nsi yonna naddala mu nsi ye Pakistan. Enkwe zikolebwa nga bali wamu n’abo abalwanyisa Obusiraamu era oluvannyuma zirangirirwa ng’ebyamagero n’obubaka. Okutugumburwa kwa General Zia-ul-Haq wamu n’abakulu abalala mu magye ga Pakistan kyakulabirako ekikakasa enkwe zaabwe. Bw’otunulira embeera y’ebyobufuzi etabanguse, ebyenfuna ebiri mu katyaabaga okweyongera kwa Gavumenti y’Amerika okweyingiza mu nsonga zomunda ez’eggwanga lya Pakistan; n’engeri Gavumenti ya Pakistan gy’etitiibyamu abawagizi ba Abakadiyani, kino kiretedde abakulembe abokuntikko Abakadiyani okuddamu okusuubira nti bagenda kuddamu okufuga eggwanga lya Pakistan.

 

MIRZA TAHIR AYOGERA ERI BANNAMATEEKA B’OMU AMERIKA

 

          Okusinziira ku lupapula olw’amawulire oluyitibwa Daily Jasarat, olw’afuluma nga ennaku z’omwezi 23rd/Oct/1994, Mirza Tahir bwe yali alambula mu Amerika, yasisinkana olukiiko olukozi olw’mateeka mu Amerika oluyitibwa American Congress wamu n’olukiiko olufuzi oluyitibwa Senate, Yabakakasa okubaweereza obutebalira era n’okwongera mu maaso endowooza ye ewakanya okulafuubana mu kkubo lya Allah ye gye yayita “JEHAD-FREE IDEOLOGY” ebyo nno byali bigambo ebiwoomerera ennyo mu matu g’abo abatya Obusiraamu mu mawanga ga Bulaya. Yabegayirira bamuyambe okuyunga olujegere wakati wa Gavumenti ya Pakistan n’eddiini y’Abakadiyani. Mu bamu ku abo abaaliwo ku mukolo ogwo ly’edindirizi ly’amawanga ga Bulaya eliyitibwa Yousuf Haroon nga ye muganda w’omwami Mahmood Haroon, eyaliko Gavana wa Sindh, eyawagira ennyo Abakadiyani/Abahmadiyya n’ebyo bye bakkiririzamu. Era nga asuubira nti luliba olunaku lumu ne beyagalira mu nsi eyo.

(Bino bikoppeddwa okuva mu lupapula lwa Amawulire oluyitibwa: Weekly Pakeeza International, Toronto, Canada.

 

OKUDDA MU PAKISTANI KUMAZE OKUKAKASIBWA, ABALOONGOOFU  BO BAKUBONYABONYEZEBWA OLW’ENKYUKAKYUKA-

Bya Mirza Tahir.

Rabwa (N.N.I)

         Mirza Tahir, nga ye mukulembe w’eddiini yab’Ahmadiyya yagamba nti kati emikisa gy’okuddakwe mu Ggwanga lye Pakistan gimaze okubeera emyanjulukufu. Bwe yali anyonnyola ebigambo bye yayita eby’obu Nnabbi “AFTER 11 YEARS” ebitegeeza “OLUVANNYUMA LWEMYAKA 11”  ebyayogerwa Jajjawe, Mirza Ghulam Ahmad, eyatandikawo eddiini y’obu Ahmadiyya,Mirza Tahir yagamba bwati ,:

Emyaka 11 oluvannyuma lw’okuwahhaanguka okuva e Pakistan giweddeko mu April 1995, era kati okudda mu Pakistan kumaze okutuuka, wabula ensonda eziri okumpi ddala ne Mirza Tahir zigamba nti yagamba nti,: yaloota nti wagenda kubeerawo enkyukakyuka mu byobufuzi era abakulu mubo bagenda kufa n’abakulu b’amaddiini bagenda kubonyabonyezebwa, omukulembeze w’ekibiina ekyebyobufizi ekitutumufu n’abantu  b’omu nnyumbaye n’abo abamuli okumpi bagenda kufuuka Bahmadiyya.

 

Wetegereze:

       Abantu bomu nnyumba y’omukulembeze weby’obufuzi ono bonna baali basaakaanya abatutumufu ab’Obukadiyani, si yali bwomu yekka, wabula abantu nga 40 abalala abaali mu lukiiko lwe Ggwanga n’abo abaava mu nkiiko z’ebitundu baali Bakadiyani. Naye olw’okubasobozesa okufuna ebifo mu nkiiko ezo baali baalangirira mu lujjudde nga bwe bataali Bakadiyani era  mbu baali Abasiraamu aba nnamaddala era abaali bakakkasa nti Mirza Ghulam Ahmad Kadiyani n’abagoberezi be bonna Bakaafiiri  abatakyakkiririza mu Busiraamu. Eyo nno y’enkola n’endowooza y’Abakadiyani.

Kyali kisoboka okubeera nti abakiise ba Palamenti bano, olw’okutuukiriza ebigendererwa byabwe, okulangirira  mu lwatu nti kati bafuuse Abakadiyani kino kibasobozese okutuukiriza ekirooto kya Mirza Tahir era bwe batyo abakiise bano babe nga bamwelurira ekkubo okudda ku butaka mu Pakistan emirembe, nga abangi abalala abaatoloka  bwe bakola.

Insha-Allah ekirooto kino tekigenda kutuukirira.

           

OKULAGULA: AMAZIMA N’OBULIMBA.

 

Okumanya ebinaaberawo oba ebiribeerawo mu biseera eby’omumaaso byewunyisa nnyo abantu, era abantu bagezzaako  okuteekateeka  amakubo nga betegekera ebiri mu maaso n’ebibamba okugeza nga:entekateka,okusuubira,okulagula n’okulanga.Balowooza nti okumanya ebigwa tebilagaanye kiyinza okubayamba okukola enteekateeka ssinziggu ezibasobozesa okwewala obubenje n’ebibamba olwo nno ne babeera mu bulamu bw’ensi eno nga beyagala n’okusanyuka ebitayogelekeka. Bambi  babeera  tebamanyi nti obulamu bwabwe waliwo Omutonzi abuwaniridde era  n’ebyo bye tuyita obubenje  biba bisaliddwawo Allah era ne biryoka biba nga ffe bwe tubilaba. Ekyo kyonna Allah kye yatuteekerateera kitutukeko okukimanya nti kijja kututuukako kyongera bwongezi ku bwakyo kutunakuwaza. Kale Allah  obutabitumanyisa ddi lwe binatugwako kituyamba kinene nnyo obutateeka bulamu bwaffe mu mbeera ey’okunyolwa n’okwelarikirira. Mungeri y’emu obunafu buno obw’obutamanyi kinatutukako mu dakila edirira, buletera abantu  abayaaye, abakumpanya era ababbi abeyita ba Nnabbi okukozesa obutamanya bwaffe okutuukiriza ebigendererwa byabwe. Okuva edda ne dda abantu abafana bwe batyo bazze belaguzalaguza, baloga, basera n’okulimba abantu mbu basobola okubabulira ebinaabatuukako era ne babawa n’amayirizi mbu babyekingirize. Bakozesezza buli kakodyo k’obulyake n’obulimba nga okutunulira munyenye, ebibatu byengalo, okukozesa ennukuta, amayinja agatangalijja n’ebirala ebifanana ng’ebyo.

Emikolo gy’obuwangwa egy’enjawulo gisangibwa mu mawanga n’ebitundu bingi eby’ensi: Abalaguzisa emunyeenye,  Obulogo, abakozesa ensiimbi eng’anda, amayinja agatangalijja, ESP- Extra- Sensory Perception (okukozesa Amajinni okumanya ebinaddirira. Obusamize, bikozesebwa nnyo mu mawanga ga  Bulaya. Mungeri y’emu okubuulira omwana ebinamutuukako mu bulamubwe nga bakozesa omwezi n’emunyeenye, okubebera mu bibatu by’engalozo, ebilooto n’okubitaputa bye bimu ku bikozesebwa mu nsi ezirimu Abayindi n’abo ababafanaana. Okugeza: mu Ggwanga ly’Abahindu omwana bw’azalibwa batunuulira ebifo ebyemunyeenye zi ssehhendo (planets) ne bateebereza omwana oyo ky’anaabeera mu bulamubwe. Mu mawanga g’ebuvanjuba osanga abantu ku mabbali g’enguudo nga babuulira abantu mbu emikisa gyabwe era oluvannyuma babasaba babasasule olw’omulimu gwe baba babakoledde okubamanyisa emiksa gyabwe. Bangi mu bo bakozesa enkusu era n’abalala bo  batunula mu bibatu  era basangibwa nnyo ku mabbali genguudo z’omu kibuga Karachi.

Omusajja ayitibwa Nanstradauus nga musawo Omufaransa era eyali omutebereza w’ebinajja mu biseera by’omumaaso, bingi bye yayogera ebigenda bibaawo oluvannyuma lwe myaka 400.

Waliwo n’abalala nga Edgar Cayce, Jean Dixon bebamu ku abo abagenze balagula ebirigwawo ate ne bituukirira.

Sayansi bw’agenze nga akulakulana wamu n’okuvumbula, ebintu bingi biteeberezeddwa ate  ne bituukirira.

Abasawo mu biro bino bakozesa Tivi eziyitibwa Ultrasongraphic Machines okumanya omwana ali mu lubuto lwa nnyina oba anaaba mulenzi oba muwala. Mungeri y’emu ab’ebyembeera z’obudde mu nsi yonna nabo bakozesa ebyuma ebirengera ewala ebiyitbwa Satellites okusobala okumanya embeera y’obudde bw’enebeera mu nnaku ezinaddirira.

       Ne bwekityo n’abatunilira ebyomu bwengula batera okulangirira biki ebinaabawo mu ntambula z’ensi n’emunyeenye - nga Omwezi, Ensi oba Enjuba okusiikiriza binaabyo nga ebula emyaka n’ebisiibo bilyoke bibeewo era ne bituukirira nga bakozesa okubalirira ku byuma bikalimagezi.

Abo bonna abagenze bakola ebyo byonna baze batubuulira nga bwe bagenda beyongera mu kukuguka mu magezi ga Sayansi sso si kweyita ba Nnabbi yadde ba Nnaddiini.

Enkusu zikozesebwa okulonda ebbaluwa ey’omukisa olw’ensonga nti ebbaluwa eyo eba esigiddwako emere yayo. Era tewabangayo ku nkusu yadde mukama waayo eyali yelangiridde ku bwa Nnabbi. Okuteebereza, okulagula, n’okulangirira ebirigwawo mu biseera byomumaaso si nsonga elaga nti omuntu oyo mutukirivu. Era tewali Ddiini yonna ebyeteekako yadde ababikola okwelangirirako obutuukirivu. Allah Ow’ekitiibwa Owa wagulu ennyo agenze atusindikira ababaka ababadde n’obusobozi obumanya ebyekusise era oluusi ne balangirira ebiribaawo mu butali bugendelevu naye ebyo tebaabitwalanga ng’ekyokukakasa obu Nnabbi bwabwe.

 

Mirza Ghulam Ahmad Qadiyani ye yekka eyalina omukisa omubi ne yelangirira nga bwe yali Nnabbi olwebyo bye yali alangiridde nti bigenda kutuukirira era nti bwali bubaka okuva ewa Allah naye ate bambi kumpi byonna ne bitatuukirira. Y’omu eyagamba nti ebirooto ebituufu bisoboka okufunwa ba Malaya, Abayaaye, Abasinza ebifananyi,Ababbi, Abenzi n’Abalimba.

(Bino bikopeddwa okuva mu kitabo ky’Abakadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain, Malfoozat omuzingo ogwe10 empapula 92, 93, 151).

Era yabilangirira ng’ebyamagero ebikulu ennyo ebiraga amazimage n’obwa Nnabbi bwe. Kati kiri eri abagoberezibe okwesalirawo wa webayinza okuteeka oyo omusajja eyepaatika ku bwa Nnabbi. Ekisinga okwewunyisa kwe kubeera nti buli lwe yesibanga ku kintu kyonna era n’akirangirira ng’obubaka bw’afunye obukakasa obutuufu bwe nakyo gye kyakomanga okumuswaza ne kitatuukirira. Kakibe nga kyali kikwata kuye ng’obufumbo obutukuvu obwaka mbu nga bubaka wakatiwe ne Muhammadi. Begum’ (soma ekitabo ky’Abakadiyani ekiyitibwa : Roohani Khazain omuzingo ogwo5 olupapula: 325) oba kabube ‘mbu obubaka bw’okubonerezebwa kwa Abdullah Atham’  (soma ekitabo ky’Abakadiyani ekiyitibwa: Roohani Khazain omuzingo ogwo 6 olupapula: 292).

Tewaali kyali kisobola kumuyamba ka kibe enguzi gye yawanga aboluganda b’omukyala Muhammadi Begum yadde olukasuka lwe yakasuka ensigo z’empindi mu luzzi olwalekebwawo ettayo. Byonna  tebyamuyamba.

Kigambo kya nnakku  nnyo nti oluvannyuma lw’emyaka egisoba mu kikumi n’oluvannyuma lw’okumanya ebikolwa bye nga byali bya bulimba, tukyagenda mu maaso n’okulaba abantu nate abakyagenda mu maaso nga bakkiririza mu kirerya ky’obunnabbi bw’omusajja ono. Azikiriza obukkiriza bwabwe, ayonoonye ebiseera byabwe n’ensimbi zabwe nga bali mu kuwakana oba Isa Ibn Maryam yafa, yazalibwa oba agenda kuddamu okuzaalibwa,kitaawe yali ani n’ebirala.

Twewuunya abantu olukakkanya lwe bakakkanyiziddwa olw’okwagala okufuna eby’akaseera akatono nga ebyobwagazi ne wankubadde nga bibajjisisaako  obukkiriza bwabwe!

             Obusiramu bwo bugamba nti abo si Basiraamu. Ffe tubuuza Abakadiyani ekibuuzo kyangu nnyo:

Oyo eyeyita ‘Nnabbi’ era ‘Masiih’ eyasuubizibwa tayogerangako bigambo nga bikwata ku kufa kwa ATHAM nga agamba bw’ati? :

“Nhheenda kukikkiriza nti nze ndi mulimba, nsiige n’enziro mu kyenyi kyange, nswale oluswala era munsibe omuguwa mu bulago muntuge singa Atham taafe mu kiseera kye nnangiridde.”

(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo eky’Abakadiyani ekiyitibwa Roohani Khazain  omuzingo 69. olupapula 293) Kufa,Ha! Ha!, nga teyafa! Mmwe abagoberezibe lwaki temumwabuliranga yadde okumuwakanya olw’okwogera ebigambo bye yayita obubaka ate nga bya bulimba yadde temwagezaako okumusiba mugwa mu bulago okumutuga?

Naye ffe kale ekyo tukikoze yadde tukeleye emyaka 100.

 

                                                        

                                                           

 

                                                  EKIRAAMO

        Tubabikira ne Nnaku enyingi okufa kwomwaami Naeem Osman Memon Kadiyani, eyafa ekikutuko mu kibuga London, amangu ddala nga baakawandiika ekitabo ne munne Mirza Tahir Ahmed ekiyitibwa “3 in 1”(amakulu:Obusatu mu kamu) ekyawandiikibwa nga kiddamu ekyo ffe kye twawandiika ekiyitibwa “2 in 1”(amakulu:Obubiri mu kamu) nga kikwata ku bulamu bwa Mirza Ghulam Ahmad Qadiyani. Tusaba Allah agumye abennyumba ya Neem Osman Memon Qadiyani olw’okufiirwa kuno. Okufaakwe okw’ekibwatukira kutulumye. Singa abadde nga awangaddeyo  akabanga oba yandisobodde okusoma ku katabo kaffe akayitibwa “3 + 1 = 4th Khaifa nga ke keko akadda mukali  akaabwe era tukikakasa nti Allah yandimwanjuluzza omutima gwe eri Obusiraamu.Naye kitalo nnyo!

 

Mu ngeri y’emu tutusa okubagiza kwaffe eri omwami Mirza Tahir Ahmad era tusaba Allah, kale amuweeyo ekiseera ekiwanvuko asobole okutwalirizaako mu maaso omulimu ogwo Jajjawe gwe yatandikawo, era afe nga ye bwe yafa era oluvannyuma naye abeelere ddala mu mbeera yye mwali okutuusa Allah lw’alizingako ensi. Amiina.

 

ANTI AHMADIYYA MOVEMENT IN ISLAM

Oyinza okusoma ebisingawo

Ku lutimbe lwa tivi olwa Internet luno:

http://alhafeez.org/rashid

oba reasyed@emirates.net.al

oba

Dr. syed Rashid Ali

P.O.Box 11560

Dibba AlFujairah

United Arab Emirates

Fax: 9719442846

Dr. Ahmed Oudeh

P.O.Box 1056

Ronninge 14421

Sweden

Tel: 085 32 55 807

 

EBALUWA EY’OLWATU ERI MIRZA TAHIR AHMAD QADIYANI IMAAM W’ESINZIZO LY’ABA AHMADIYYA

Ssebo, Mwami Khalifa ow’okuna ow’Abaqadiyani

Tufunye amawulire agagamba nti kati naawe otandise okuloota emisana bwe ttuku mbu nawe kati otandise okufuna obubaka.

Nawe ate kati wefananyirizza kitaawo nga bwe yali, kikusobozese okutuukiriza ebigendererwabyo!

Okuva lwe watolosebwa okuva mu Ggwanga lya Pakistan era mbu okusinziira ku kulagulakwo nga Jajjawo kwe yakola okwali kugamba nti “OLUVANNYUMA LW’EMYAKA 11” egya Mirza Ghulam omu Qadiyani era eyatandikawo essinzizo ly’aba Ahmadiyya, kati ekiseera mbu kituuse oyongeddeko n’okugamba nti Pakistan egenda kusaanawo mbu era abantu abatutumufu bangi bagenda kubonyabonyezebwa. Era nti waliwo munabyabufuzi omuyitimufu agenda okufuuka Omuqadiyani ekyo kisobozese okwelulwa kwe kkubo elinakuzza mu Pakistan.

 

Kati nno ggwe mwami TAHIR AHMAD ffe: Syed Abdul Hafeez Shah ne Syed Rashid Ali, tukusoomooza nti ebyo byonna by’oyogedde nga bikwata ku Pakistan  n’okudayookwo, bwe binatuukirira mu kiseera ekyo ky’ogeze ekyemyaka 11 so si luvannyuma lwa myaka 12, naffe tujja kuyingira mu Buqadiyani mu maaso go awo mu ssinzizolyo ly’oyita omuzikiti mu kibuga London. NAYE bwe kinaagaana okutuukirira nga bw’okirangiridde mu kiseera ky’okigeredde naawe tukusaba ojje Osiramuke.

 

Tukusaba okkirize okusoomoozebwa kuno mu buwandiike nga tewanaba kuyitawo myezi esatu okuva kati.

Bw’otokikole bw’otyo, naffe tugenda kutandika okwanjala obulimbabwo n’okutyako kw’okoze eri okusoomozebwa kuno.

 

Nga era Mirza Ghulam omu Qadiyani bwe yali ne beyali nabo, namwe bwe muli. Muli balimba, muteekateeka enkwe n’abalabe b’Obusiraamu era abalabe be Ggwanga lya Pakistan, ne mubamatiza era ne muzanyira kubirowoozo by’abantu nga mulangirira enkwe ze mumaze okukola nti bubaka obusse ku mwe. Mungeri yonna, Insha-Allah, guno gwe mukisa gwo ogusembayo era Allah bwanabeera nga akkiriza ogenda kuswala oswaluke. Allah yalonda obusiraamu nga ye Ddiiniye gyasiimye era gwe kikakafu oli bweru waayo era Allah yeyatonda e ggwanga lya Pakistan naye ggwe  toli w’amazima eri lyo. Kikakafu Allah agenda kukukuuma byombi abitaase abalabe babyo, INSHA-ALLAH.

 

ABA KADIYANI 714 BAASIRAMUSE MU GGWANGA LYA GYAMANI(GERMANY).

 

       Omwami Zofar Iqbal nga ono muvubuka omujaahidi ow’ekibiina ekirwanyisa obu Ahmadiyya ekiyitbwa Anti Ahmadiyya Movement in Islam atutuusizako amawulire okuva mu Ggwanga lye Gyamani(Germany) agagamba nti Abakadiyani/aba Ahmadiyya basasanidde mu mawanga ga Bulaya mangi naddala mu ggwanga lya Germany nga bagenda basomesa bo kye bayita Obusiraamu. Ekigendererwa kyabwe bebo Abasiraamu bambi abanoonyi b’obubudamu abadduka okuva mu Ggwanga lye Bosiniya(Bosinia). Nga era bulijjo batwala embeera nga zino ne bakozesa omukisa guno nga beefula Abasiraamu bambi abalumirirwa Basiraamu bannabwe, nga babawa obuyambi bw’ensimbi mu linnya ly’Obusiraamu era nga bwe babagumya nti nabo Basiraamu banabwe aba Sunni. Bwe batyo basobodde okuwabya n’okukyusa Abasiraamu bangi ddala abavudde mu ggwanga lye Bosiniya(Bosinia) nga badduka ekibambulira ky’olutalo.

Naye olw’okusaasira lwa Allah, Omusiraamu embula kalevu ono nga  ali wamu ne banne balaze obumalirivu era ne batandikirawo omulimu Ogw’okulabula, Okuwabula n’Okutegeeza Abasiraamu abo kiki ddala ekituufu. Era mu kaseera mpa we kaaga Abasiraamu Ababosiniya abasoba mu lusaanvu(700) abo abanoonyi b’obubudamu mu kibuga kimu kyokka ekiyitibwa Heilbronn bamaze okudayo mu Busiraamu. Al Hamudulillah!

 

 

تاريخ الاضافة: 26-11-2009
طباعة