AlFatwa No. 2

Bismillah Al-Rehman Al-Raheem

LUGANDA

AL FATWA INTERNATIONAL N° 2

FOUNDER &CHIEF EDITOR : SYED ADUL HAFEEZ SHAH

EDITOR: SYED RASHID ALI

RAB US SANI 1415 H/SEPT 1994

WEGENDEREZE OBULABE OBUVA MU KIBIINA EK’YABA AHAMADIYYA

NGA BWOLEKEZEBBWA ERI OBUSIRAAMU.

Mwatu Omusomi waffe,

Kuno kwekuvvunula okusoose

Okwo’olupapula ALFATWA nga kujjibwa mu lulimi olu urdu

Munsangi zino, aba Ahamadiyya bafuuse namujjinga mu Busiraamu, nga beefula okubeera abalwanilizi ab’obusiraamu, bafuuse ekyokoola mu ku kyaamya n’okubuzabuza abasiraamu nga babolekeza omuliro Jahanam. Mirza Gulam Ahmad n’abagoberezibe kyamala dda okulangirirwa mulwaatu munsi yonna nga bwe BAAVA MUBUSIRAAMU (MURTAD), ABAKAFIRI ERA ABATAKYAALI MUBUSIRAAMU, kino kyakolebwa abamanyi ab’obusiraamu awamu n’amawanga ag’obusiraamu.

Abasiraamu ababbinkira mu byensi n’abo abatali basiraamu balina endowooza egamba nti okulwanyisa enjigiriza ey’aba abahamadiyya kuva kunjawukana mu ntegeera, n’entaputa. Bambi nebatamanya nti Abahamadiya bakozesebwa abalabe b’obusiraamu era n’akatundu akaleeta enjawukana muntamputa, keeko kenyini akabinja kano ak’abahamadiya n’abo abalwanyisa obusiraamu kebakozesa okutukiriza ebigendererwa byaabwe mu by’obufuzi n’eby enfuna munsi s’obusiraamu. Obulabe obupya eri obusiraamu kati buli mungeri y’abakulembeze ab’Abaqadian abo aba Ahmadiyya gye benyigidde mu by’obufuzi, eby’ensi yonna, n’engeri gyebayambamu mu nkukutu abalabe ab’obusiraamu munda munsi ez’obusiraamu. Omulimu ogw’obukkessi agukola ayinza okugaggawala amangu naye gubeera mwangu ate nga si gwa bulabe eri agukola singa yewogoma mu bitiibwa ebyeddiini nga n’abakulembeze nabo ba nda ya nakalama abomukifo ekyo kyenyine.

Ekigendereddwa mu kufulumya alupapula luno, kwekumanyisa (oba okutegeeza) abasomi baffe, amazima amekusifu, agakwaata ku Mirza Ghulam Ahmad ow’eQadiani, eyatandikawo ekibiina (eddiini) ey’Abahamadiyya ku Busiraamu, eyeyitanga omununuzi ow’obusiraamu ayasubizibwa era Mahdi n’akwongera okwanjala kazambi awembereddwa ekifananyi eky’obwanaddiini asangibwa mu kibiina kino ekyekweese mbu kikolelera obusiraamu.

Mirza Ghulam Ahmad ow’eQadian yettanirango nnyo okulanga mu mpapula z’amawulire. Yakozesanga omukisa guno okusasaanya endowoza ze, okulanga ebitabo bye, n’okusasanya okulagula kwe era n’okuvuma awamu n’okutiisatiisa abo bonna abanagezangako okumuwakanya n’okuvuma abamuwakanyanga okutuusa ne kooti yamateeka lweyamusitukiramu !

ENDAGANO EY’OKUMUKAKKANYA

Nze Mirza Ghulam Ahmad Qadiani ndayira mu linya ila Katonda nti OKUVA N’OLWALEERO.

. Ngenda okwewala okusasaanya ; okulagula kwona nga kuwa amakulu agalaga nti omuntu yenna (a’be Musiraamu, oba mu Hindu oba mu Kristayo anatyooboolwa oba anafuna ekibonerezo okuva mu Ggulu.

. Era ngenda kwongera okwewala okusaba Katonda okwengeri eno nga kwa kukakkanya omuntu yenna oba okulaga akabonero konna akategeeza nti omuntu afunye ekibonerezo okuva eri Katonda ; oba okwolesa ani omutuufu oba omukyaamu nga waliwo okukubaganya ebilowoozo ku bye ddiini.

. Nate era ngenda okwewala okusasanya ekintu kyonna nga kyefananyiriza ku kubikkulirwa nga bekigendelerwa kwekulaga ani anakakkanyizibwa oba okutusibwaako ekibonerezo okuwa ewa Katonda.

. Mubuyinza bwange bwonna ngenda okulagira abo bonna era ngenda okusaba abo bonna benkulembera, okugoberera ekubo ly’elimu n’ange lye neyamye okukwaata nga bwe lyogeddwako waggulu.

Nze asizaako omukono : Mirza Ghulam Ahmad

Abadewo ng’omujulizi : Khawaja Kamaluddin BA Lib.

Omulamuzi asizako omukono : J. M. Dowie

Omulamuzi owa Distriet ey’eGurdspu

(District Magistrate, Gurdaspur).

Enaku z’amwezi 24th Fevruary, 1899 (Binno biri mukitabo ekiyitibwa Roohani Khazain Omuzingo 15 olupapula 430 – 50).

PS : Mirza n’abagoberezibe baze badingana mukumenya endagaano eno emirundi mingi wano jjo ly’abalamu ma mwaka 1989 Mirza Tahir (ono nga ye mukulembeze owa aba Ahamdiyya aliko kati) yasoomooza abasiraamu munsi yonna bakungaane bakolimiragane ng’abayita abalimba, abatakkiriza (abakafiri) n’ebirala. Era n’asaba bakolimirwe bwatyo n’ayolesa nga bo benyini bwe batassa kittibwa mu oyo ayeyita Nabbi.

Kale yali Nabbi ki oyo eyeyama mungeri eteeka emirimu gye mu katyaabaga!!

Era yali Nabbi ki oyo eyeyama mungeri eteeka emirimu gye mu katyaabaga !!

Era yali Musiraamu ki oyo (nga mwotwalidde n’ekitiibwa kye), atawa kitiibwa oba okussa ekitiibwa mu ndagano ze !!

OKUMAMULA OKWEDDIINI

Fatawa Alamgiri :

“Singa omuntu yenna takkiriza nti Hazrat Muhamad (S.A.A.W) ye Nabbi ow’enkomelero oba n’ayogera nti “nze ndi nabbi” nga ky’ategeeza nti asobola okufuna n’okutuusa obubaka, oyo naye abeera afuuse omukafiri.

(Fatwa Hindiah Omuzingo 3 olupapula 263)

Qazi Ayadhin AqShifa :

“Mungeri yeemu oyo yenna agamba nti omuntu omulala asobola okubeera nabbi oluvanyuma lwa nabbi Muhamadi (S.A.A.W). Oba neyelangirilako obwa Nabbi ye kenyini oba ng’alowooza nti okufuna obwa Nabbi kisoboka nga wetukuza mu mutima... mungeri yeemu n’oyo yenna agamba nti afuna okubikkulirwa ne bwa’abeera teyerangirirako bwa nabbi bulambalamba... ABO BONNA BABEERA BA KAFIRI kubanga bawakanya Nabbi Mahmmadi (S.A.A.W) olwensonga nti YYE (Muhammadi (S.A.A.W) yatubulira dda nti YYE yewenkomerelo mu ba Nabbi bonna era nti YYE yeyasindikibwa eri abantu bonna. Ummah yonna kino ekyegattirako okusinzira ku Qur’an Entukuvu, sunnah (enjigiriza ya Nabbi) era ne Ajma’a (okwegatta kw’abasiraamu) . Obu KAFIRI ob’abantu bwebutyo bwa kipempe (bwa namadala).

“N’oyo awakanya okusalawo kw’abasiraamu bonna (Ajma’a) eri abo abeyita ba Nabbi nti bakafiri, naye mukafiri”.

Ahmed Raza Khan:

. Aba Qadiyani si Busiraamu era Bananfusi. Ab’ava mu Busiraamu (Murtadi). N’omunanfuusi ye muntu newankubadde nga yayatula kalima, nga yeyita n’omusiraamu, y’abeera ng’avoola ekitiibwa kya Allah ne Nabbi (S.A.A.W) era awamu ne ba Nabbi abalala oba ng’awakanya akatundu konna mu njigiriza y’obusiraamu.

. Imam omu Qadiani bwa kukulembera mu swalah, eyo ebeera nfu.

. Tokkirizibwa okuwa omu Qadiani Zakat.

Aba Qadiani ba kafir, n’eyama gye basaze eri Haram.

. Singa Abasiraamu basalawo okuriza okutabagana n’aba Qadiani kyokka omuntu n’akitwala ng’ababa banyigirizibwa era nga n’ekikolwa ekyokuzira nga nakyo kikolwa kya kunyigiriza, oyo naye aba avudde mu Busiraamu.

. (Ekitabo : Ahkam-e-shariat omuzingo 1 empapula 112, 128, 139, 177).

OKUSALAWO

OKW’OLUKIIKO OLW’EGWANGA LYA PAKISTANI :

Nga enaku z’omwezi 7th September 1974, Govumenti eya Pakistani yafuuka ensaale mu mawanga ag’obusiraamu,kyatwala emyezi 6 nga palamenti eteesa era n’okuwa abakulembeze, aba Qadiyani eddembe elijjuvu oly’okwelwanako, oluvanyuma olukiiko olwa Palimenti olumanyiddwa nga National Assembly of the Islamic Republic of Pakistani lwa’ salawo nti aba Qadiyani oba aba Ahmadiyya oba aba Lahoris SIBASIRAAMU mu Pakistani era ne ssemateeka (Constitution) ow’egwanga Pakistani n’ekyusibwamu nga egamba bweti.

“Omuntu yenna bw’abeera nga takkiriza nti Nabbi Muhammad (S.A.A.W) y’owenkomelero mu ba Nabbi bonna atabusibwabusibwa oba, ng’omuntu oyo eyiyeta Nabbi, oba amakulu gonna agali mu kigambo ekyo, oba entitotola kebele etya ng’egobererwa oluvanyuma olwa Nabbi Muhammad (S.A.A.W) oba okutongoza oyo yenna eyeyita Nabbi, tabeera Musiraamu olwekigendelerwa kya ssemateeka.

(Constitution or Law)

OKUSALAWO OKWA RABITA ALAM-E-ISLAM :

Mu mwaka 1974 abamanyi (abayivu) mu busiraamu nga baava mu mawanga ag’obusiraamu 144 basisinkana ne batuula mu kibuga Makkah ne basalawo awataali kye kubiila nti Aba Qadiyani oba aba Ahamadiyya ba KAFIR, nebaba nga bagobeddwa mu luganda olw’obusiraamu.

(Resolution of Rabita Alam Al-Islami 1394H)

w omukwano omusoni,

Nga tukozesa ensalawo ezo waggulu, ate katutunulireko Okulanga (okulagula) okwe’emirundi esatu okwali okwobulimba Mirza Ghulam kweyakola okwasinga okwtikiliza.

BIKRA WA THAYEB

Kiri kigendelerwa kya Katonda nti alileeta abakyala babiri banfumbirwe. Omu alibera mbelera ate omulala Namwandu. N’olwekyo okwolesebwa kuno okukwatagana ne BIKRA (EMBELERA) kumaze okutukirizibwa era olw’okusasira okwa Katonda kati nina abaana abalenzi bana okuva mu mukyaala ono. Nkyalindilira okutukirizibwa okw’okwolesebwa okukwatagana ne NAMWANDU.

(Byawandikiibwa mu Roohami Khazain omuzingo 15 olupapula 201).

OKUFUMBIRIGANWA NE MOHAMADI BEGUM

Oluberyeberye Mirza sb yayagala awase omukyala ng’asinzila « ku kubikkulirwa » mbu okwomuggulu » naye omuwala ne kitaawe nebagaana ne bamufumbiza omusajja omulala, olwo nno Mirza sb nafuna ate « okubikkulirwa okulala mbu okuva muggulu » era nga kuluno omukyala ateekwa buteekwa kumufumbirwa, mu buntu bulamu oba mubukuusa.

KYEYAVA AGAMBA BW’ATI :

Tekiri ekiragiro kimu wabula biri ebiragiro mukaaga ebisangibwa mu kulagula kwange :

. Ndibeera mulamu okutuusa ekissera wendimuwasiza.

. Taata w’omuwala atekwabuteekwa okubeera omulamu okutuusa nga ekiseera eky’okuwasa muwalawe kituuse.

. Oluvanyuma olw’okumufumbiza wayitewo emyaka 3 Taata womuwala afe.

. Bba w’omuwala afe mu banga lya myaka ebiri n’ekitundu.

. Okutuusa nga maze okumuwasa; omuwula oyo ateekwa okubeera nga mulamu (tanafa) n’ekisembayo.

. Oluvanyuma olw’okufuuka namwandu, nebwewanabeerawo okuziyizibwa ateekwa okunfumbirwa.

(Ekitabo Roohani Khazain omuzinfo 5 olupapula 325).

NZE NGENDA OKUFIIRA MU MAKKAH oba MADINA

(Ekitabo Al-Bushra omuzingo 2 olupapula 105)

Mu mazima eriyo Qadiyani oba omu Ahamdiyya yenna ayinza okutubulira ani eyali NAMWANDU oyo Mirza Ghulam gwe yawasa ? Mumazima Mohammadi Begum yafumbirwako ku Mirza nga Mirza tannaba okufa ? Ekyewunyisa omwami n’omukyaala bonna webali balamu emyaka 35 bukya Mirza afa !

Ensi yonna ekimanyi nti Mirza Ghulam yafira mu Toilet obulwadde obwa kolera (Cholera) mu kibuga LAHORE ekiri mailo 5,000 (8,000 km) okuva mu Bifo (Makah, Madina) weyalagula nti walifira !

EBY’OKULABIRAKO EBY’OBUKAFIRI EBYA MIRZA QADIAN

. Ebigambo bya Katonda byanzijira bingi nnyo era singa bikunganyizibwa bitungibaamu ebitabo 20. (Roohani (Khazain omuzingo 22 olupapula 407).

. Owange gwe Mirza naawe wava munze ng’omwana wange. (Ekitabo Tazkirah olupapula 142).

. Omusingi ogw’ebigambo byange si Hadith (ne Nabbi S.A.A.W) wabula Qur’an n’okubikkulirwa ebikka gyendi, kituufu, mu kuggumiza, tuzileeta Hadiths ezo eziriziganya ne Qur’aan entukuvu era ezitakontana na kubikkulirwa. WABULA HADITHS ENDALA TUZIKASUUKA ERI NG’EBISANIIKO

(Ekitabo Roohani Khazain omuzingo 19 olupapula 140).

. Nabbi (S.A.A.W) teyategeera bulungi amakulu ag’essuula Za-zalzalah ‘Surat 99).

(Ekitabo Roohani Khazain omuzingo 3 olupapupa 166).

. Amakulu aga Qur’aan amatuufu gayolesebwa nze (Ekitabo Roohani Khazain Omuzingo 17 olupapula 454).

KATI KIRI ERI OMUSOMI OKWESALIRAWO KW’EBYO EBIKWATA KU KIFO EKYA MIRZA GHULAM AHMAD MU BUSIRAAMU. WANO WENSABIRA ABA QADIYANI OBA ABA AHMADIYYA BONNA AKUFUMINTIRIZZA KU BWINNO ONNO YENNA GWE TULEESE. OBUKKIRIZA BWAFFE KY’EKISINGA OKUBEERA EKY’OMUWENDO MU BULAMU BWAFFE, TOKKIRIZA KUBULEKA BUZIKILIRE. TUSABA ALLAH ASSE OBULUNGAMU (HIDAYAH) ERI ABO BONNA AB’A AHAMADIYYA OBA ABA QADIYYANI BAYINGIRE MU BUSIRAAMU – AMMINA

Tujja kwenyongera okugenda mu maaso n’okwanika oba okwanjala ebikolwa ebikyafu era ebivundu ebya Ahmadiyya byebolekezza eri obusiraamu.

Tutukirire ng’oyita ku lutambi olwempuliziganya olwa internet bwoti :

http://alhafeez.org/rashid/

Email : rasyed@emirate.net.ae

KIINO KIBIINA KYA BUSIRAAMU oba kuno KWETUKUZA OKWOBUKUUSA ?

Eby’okusoma Eby’obwerere, tuwandiikire oba kuba essimu :”

ANTI AHMADIYYA MOVEMENT IN ISLAM

Dr Syed Rashid Ali

P.O. Box 11560,

Dibba Al-Fujairah,

U.A. EMIRATES,

FAX : 97 192 442846

WETEGERE : Roohani Khazain ly’ekungaaniro ely’ebitabo ebyawandiibwa Mirza Ghulam Ahmad Kadiani.

 

تاريخ الاضافة: 26-11-2009
طباعة