عرض المقال :Qadiani Conspiracy Exposed
  الصفحة الرئيسية » مـقـالات الموقـــع » كشف البلية بفضح الأحمدية » Non - Arabic Articles » Luganda

اسم المقال : Qadiani Conspiracy Exposed
كاتب المقال: webmaster

 

Muhibban-e-Mustafaصلى الله عليه وسلم                                                                        LUGANADA.

Ahmadiyya Awareness Campaign  

Amatendo gonna ga Allwah ; Ali obwa Nnaumunigina. Nsaba Allwah asse okusaasira n’emikisa  eri Syedna Muhammad صلى الله عليه وسلمoyo, oluvannyuma lwe teriyo  Nabbi mulala; era,  n’eri  abantu b’ennyummba ye; n’eri

Baswahaabah be.

Okuva mu bwa nnalukalala okudda mu byobulamuzi ebitabangufu.

Enkwe z’Abaqadiyani Zaanikiddwa

Enteekateeka z’okutondawo eggwanganga elyetongodde mu Pakistan, nga bw’olaba bwe kiri ku Vatican, mu Ggwanga lya Italy.

India yatandikawo enkambi, mu Qadiani, omutendekebwa bannalukalala.

Special Weekly Takbeer Report dated 25th December 1997

bya

Farooq Adil

Ekyafaayo kino, kirina obuwaangaazi bwe bumu, ng’obw’eggwanga lya Pakistan n’ebyafaayo byalyo.

Mu myezi  egyasooka mu mwaka 1947, ng’eggwanga lya Pakistani terinnatondebwawo, waaliwo ekibiina ky’eddini mu ssaza lye Punjabi ekyaweereza ebbaluwa  eri abafuzi Abangereza nga kibasaba nti, bo tebabalibwa mu Basiraamu- kubanga, yadde nga baali baana nzaliranwa za ggwanga lya Buyindi, naye bo si Basiraamu.

Bonna abamanyi ebyafaayo by’ekibiina kino mu Pakisitani, bakimanyi nti, Khalifa owookubiri owa Mirza Ghulam Ahmed Qadiani ng’awagirwa bakama be Abangereza n’abakulembeze Abahindu, y’eyawandiika ebbaluwa eno. Bwebatyo nno, tebaasikattiranamu mu kukkiriza okusaba kwabwe kuno. Ekyava mu kino, kwe kubeera nti, Abasiiraamu- newankubadde baali bawera ebitundu 51%,  naye baali balibwa nga abattamanyiddwa mu masaza g’e Gurdaspur, Ferozpur ne Amritsar. Eno y’eyali ensonga lwaki essaza ly’e Punjab teryagabanyizibwamu mu bwenkanya. Era, eyo y’eyali ensonga, lwaki waaliwo okusenguka n’okuttibwa kw’abantu- ebitabeeerangawo mu byafaayo by’ebitundu bino; era, ekizibu ky’e  Kashmir- ekifuuse eky’ensi yonna, wano we kyatandikira. Ensonga endala eyavaako embeera eno embi bw’eti yali nti, kyali kya mukisa mubi nti mu kwawulamu ensalo, Abasiraamu baakikirirwa ne  Sir Zafarulla Khan, ate ng’omukulembeze we mu ddiini y’omu eyawandiika ebaawula ng’ekwata ku Basiraamu eri abakulembeze Abangereza.

Bino byonna, byali byekuusa ku nkwe ezaakolebwa ; era, ebyazivaamu, y’eddiini ey’obu  Ahmadiyya- nga n’eyali Khalifa owookubiri owaabwe, ye Mirza Basheeruddin Mahmood; so nga n’omuwandiisi we, ye Allama Iqbal. Mu byafaayo, yo eddiini eno, emanyiddwa nga Kashmir Committee. Gwali mwaka gwa 1931.

Abaqadiyani tebaakoma ku kya kuyita mukama waabwe Mirza Ghulam Ahmed Qadiani, nabbi kyokka- wabula,  baamuyita  Masihi eyalagaanyisibwa ; era, bo bakkiriza nti, Hazrat Isa (AS.) yafa era n’aziikibwa e Kashmir. Bwebatyo nno, eri bo, Kashmir kifo kikulu nnyo mu ddiini yaabwe.

Kino kyatubikkulilwa ne Hakeem Nuruddin ng’ono ye yafuuka omukulembeze ow’oku ntikko ow’ekibiina ekya Ahmadiyya Jama'at oluvannyuma lw’okufa kwa Ghulam Ahmad Qadiani. Y’eyali omusawo omutongole owa Maharajah w’e Kashmir era yawandiika ekitabo –oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza, mwe yaweera obukakafu obulaga nti, ddala entaana egambibwa nti mwe mwaziikwa Hazrat Eisa esangibwa okumpi n’e Srinagar, mbu y’ekakasa nti balina obwannannyini ku Kashmir. Naye kino kya bulimba. Omuwandiisi w’ebyafaayo omututumufu, Abdul Haleem Sharar, yatulaga amazima- ku bulimba bwabwe buno, mu kitabo kyeyawandiika ku lw’omulamwa guno. Yakosesa ebyafaayo ebyakakasibwa edda, n’atulaga ng’atukakasa nti, entaana egambibwa mbu y’ey’omuntu eyatuumwa erinnya lya Eisa eri okumpi n’e Srinagar, yali ya mudumiizi wa ba Mujahid ab’omu makkati ga ssemazinga wa Asia (Central Asia) eyawangulwa mu zimu ku ntalo z’eyo era n’addukira mu kitundu kino. Eno gye yafiira.

Kyali kiseera kino (1931) ng’ ebikolwa eby’Abaqadiyani - eby’efitina  n’okuzikiriza nga bino nga tebinnamanyika; yadde enzikiriza ezikaafuwaza bwezityo, tezaali manyifu nnyo eri bantu.

Bwebatyo nno, nga balina endowoooza zaabwe ezeekusise mu mitima gyabwe era nga babiteese bulungi, baatandika ekibiina ki "Kashmir Chalo Movement ", okubuzabuza Abasiraamu babulijjo n’okusendasenda Allama Iqbal yeegatte ku bukulembeze bwabwe obw’okuntikko. Naye, olukwe lwabwe luno n’abaaluteekateeka, byali tebisobola kusimattuka liiso jjogi elya Allama Iqbal. Bwatyo, mangu nnyo yetegula ekibiina kino era ne kiggwaamu amaanyi. Musaana mukimanye nti, mu biseera ebyo, Abaqadiyani baali tebeerangirira nti bo baawufu ku Basiraamu. Wabula, baatandika mu kimpukumpuku-ng’ekigenge, okulya omusingi gw’Obusiraamu.

Baatandikira ku kya "Kashmir Chalo Movement" okusaba babalibwe nti banjawulo ku Basiraamu ; era, okugabanyizibwamu- okutaali kwa bwenkanya, okw’essaza ly’e Punjab, kwava ku ngeri ab’ekibiina ky’ Ahmadiyya Jama'at gye baali basuubizibbwaamu. Olw’okusobola okukifuula ekikakase, Abaqadiyani bazze bazannya enkwe zaabwe mu buli kintu. Baagambibwa nti, singa beerangirira nga bwe bali abeenjawulo ku Basiiraamu, bajja kuweebwa ogutundutundu ogwenkanankana  n’ebitundu bibiri ebya Pakisitani - Sialkot ne Shakergarh - nga Qadian kye kijja okubeera ekibuga ekikulu ekya Kashmir era kiweebwe  n’enkizo nga bwe kiri ku Vatican- mu nsi ya Italy, nga y’entabiro y’obukristaayo.

Abantu bakola enkwe ne Allwah naye n’asalawo ky’ayagala. Mu butabanguko bwa

1947, Abasingasinga kino tebaakimanya. Bwe baakwata emmundu zaabwe okutugumbula Abasiraamu, baali tebaawula wakati wAbasiraamu n’Abaqadiyani. Bwebatyo, n’Abaqadiyani nabo baawalirizibwa okusengukira awamu n’Abasiraamu okuva e Qadian, Gurdaspur, Ferozpur and Amritsar. Mu ngeri eyo, Abasingasinga ne basaanyawo olukwe olwali lutegekeddwa obulungi okusaanyawo Obusiraamu. Ekibi, bwekityo ne kivaamu akalungi.

Newankubadde ng’olukwe lw’okutondawo ensi e Qadiyani eyeefaananyirizaako nga Vatican (a Vatican-style City in Qadian) lwagwa butaka, naye yo Gavumenti ya Buyindi teyaweela mu kubudabuda nzikiriza eno. Mu myaka egyo, okwekandagga kw’Abasingasinga we kwatuukira ku ntikko mu muvanjuba bwa Punjab, abagwira bonna- ng’omwo mw’otwalidde n’Abasingasinga, baali tebakkirizibwa kuyingira Punjab. Kyokka, bo Abaqadiyani okuva mu nsi yonna- nga mwe muli ne Pakisitani, mu kiseera kino baali baddembe okukyala mu kafo kano akatono akasangibwa mu buvanjuba bwa  Qadian, mu ssaza ly’e  Punjab, akaafuuka kiwagi ku lwa Mirza Ghulam okutaama n’Obwannabbi.

Oluvannyuma lw’obwetwaze bwa Pakistan n’okuyisa eteeka li "Qarardad-e-Maqaased", essuuubi lyonna lye baalina n’amalindirizi gaabwe lyaggwaawo ; kuba, okusooka baali tebaagalira dddala Ggwanga lya Pakistan litondebwewo ; era, bwe baalaba nga tebasobola kuziyiya, baawankirawankira okulisaanyawo oba okulitambuliza ku bwagazi n’ezikiriza zaabwe (ez’eddiini). Bannakigwanyizi bano, mwalimu Abaqadiyani n’Abakristaayo ; ko ebibiiina by’obufuzi n’ebitali. Bannakigwanyizi bano baali tebakkiririza ddala kulaba Pakistan ngaliramulizisa Busiraamu.

Mu kyasa kino etteeka ly’okuvvoola eddiini mwe lyayisirizibwa; obubiinja bwa’amadiini bubiri ne ukiraba ng’kubuggulako olutalo. Abaqadiyani be baakulembera  ne bagobererwa Abakristaayo. Ku nsonga eno, ekigendererwa kyabwe kyali kimu. Ebifo by’e Punjab- omwali Abakristaayo abangi, ne ku nkingrizi z’e Sialkot, Lahore ne Okara era kyasangibwa nga mwe musangibwa n’Abaqadiyaani kubanga nabyo biriraanye n’e Qadian. Abagoberezi ba Mirza Ghulam Ahmad baasenga dda mu bifo bono nga n’eggwanga lya Pakistan terinnatondebwawo. Etteeka ly’okuvvoola, bwelityo lyavaako okuyunga ebigendererwa by’obubiina buno bwombi ; era, oluvannyuma lw’akaseera okuyitawo, waafunikawo olujegere olubagatta-naye, nga lwekusifu. Omukwano guno, ogutali mulangirire, gwaletawo embeera etali ya bulijjo. Obubiina buno bwombi bwalina enkolagana ssinziggu n’ebibiina by’abatujju ebizze bikankanya eggwanga lyonna –naddala mu bitundu by’e Punjab, ng’ebulayo akabanga mpawekaaga, ebiseera ebyakazigizigi mu byobufuzi, ssemateeka n’ebyobulamuzi bikomekkerezebwe.

Obubiina buno bwombi, bwakozesa nnyo amakubo gano abiri :

 

Nga bakozesa enteekateeka ssejjoloola, baatandikawo enkolagana kajegere wakati waabwe n’ebibiina bya bannakyewa. Kizibwe wa Sir Zafarullah Khan, omwami Zafar Chaudhary yakola kya nsusso nnyo ; so nga n’eyali omusigire wa Minisita w’e Sindh era omukozi wa Gavumenti eyawummula, omwami  Kanwar Idrees- ng’agondera ebiragiro bya  Mirza Tahir Ahmad, omukulembeze w’oku ntikko ow’ekibiina kya Ahmadiyya Jamaat, naye yabakolera ebitagambika mu kubawa obuyambi. Mu bibiina bya bannakyewa mwalimu ekirwanirira eddembe lyobuntu ki Pakistan Human Rights Commission ekya  Asma Jahangir- ng’ono bba, naye Muqadiyani, eyatandikawo enkolagana sinziggu wakati w’ebibiina ebirwanirizi by’eddembe mu nsi yonna ko n’ebibiina ebiyima byabo. Byalondoola etteeka lya  Pakistani ely’okutyoboola eddiini ko n’amateeka amalala agagafaanana ne balyoka bakola pokopoko akyayisa Pakistani, ne kakati akyagenda mu maaso. Ekkubo eddala, lyali lya butujju. Singa weetegereza obutabanguko obuzze bubaawo, ojja ku kisanga nti, bwonna buli mu bifo obubiina buno bwombi mwe busangibwa.

Emabegako katono, abantu aboobuvunaanyizibwa baawa Gavumenti ya Pakistani alipoota  namutaayiika, eyalaga nti, Gavumenti ya India yatandikawo enfo mu kibuga ky’e Qadian ekiri  mu buvanjuba bw’essaza ly’e Punjab. Kirabirirwa ettabi erikola ku kunoonyereza  ekiyitibwa RAW (Research and Analysis Wing) n’ekibiina kya Buyindi ekikessi ki ‘the Indian Intelligence Agency.’ Abavubuka okuva mu Pakistani batendekebwa mu byobutujju. Alipoota egamba nti, abavubuka banobayitira mu kibiina kya Jamaat Ahmadiyya ne bageenda e  Qadian. Mu bo, mulimu Abaqadiyani /Abahmadiyya n’Abakristaayo. Bwe babeera tebannagenda e Qadian era ne bwe babeera nga tebannadda abavubuka bano basoooka kwewogomako mu mayumba ga Baqadiyani n’Abakristaayo agasangibwa ku nsalo z’ebifo bino. Basooka kutendekebwa mu misomo egisookerwako. Era kimanyiddwa nti, bwe bamala okukola ebikolobero bino, abatujju bano beekweka mu bifo bino. Kisaana kimanyike nti, okuva e Shakergarh okugenda e Qadian wawerawo mayilo eziri wakati wa 20-25.

Shakergarh (n’ebifo ebiriranyewo), Tilford (ekiri e Surrey, mu Bungereza-UK, ng’eno y’esangibwa ekitebe ekikulu ekya Ahmadiyya) ne Qadian bikola ka ssumbusa(triangle) omutambuzibwa  n’okuteekateeka ebikolwa by’obutujju e Pakistani. Singa wetegereza entambula z’Abakulembeze b’Obuqadiyani mu bifo bino, ojja ku zisanga nga zewunyisa.

Alipoota yanokorayo n’amannya agamu era kino kyaleetawo akagulumbo n’okwewuunya mu Gavumenti. Okunoonyereza ku nsonga eno okwaamanyi, kukyageenda mu maaso. 

Alipoota yagamba nti, kimanyiddwa wonna nga Jamaat Ahmadiyya, Buyindi, Israel n’amawanga ga Bulaaya (Christian World)nga bwe gali mu lukwe luno; n’olw’ekyo, kino tekyewuunyisa. Naye, oluvannyuma lw’okuyisa etteeka mu 1974 erikakasa nti, Abaqadiyani

si Basiraamu era n’okuteeka mu nkola etteka eriziyiza okuvvoola eddiini- ebyakolebwa ku mulembe gwa General Zia ul Haq, enkolagana yabwe eno, yeeyongedde okutiba; nga n’ebikolwa eby’obutujju ko n’okuŋŋana wakati w’Abassunni n’Abashiiya nabyo byeyongera.

Enkolagana zaabwe zino, zaatuka ku ntikko zaazo mu 1984 awo Mirza Tahir Ahmad we yeemululirira okuva mu kibuga London. Okuva olwo- enkolagana, okupanga n’okuteeka mu nkola ekwe zaabwe, byafuuka byangu mu kuteeka mu nkola.

Alipoota yatangaaza ne kungeri  Jamaat Ahmadiyya n’omukulembeze wakyo- Mirza Tahir Ahmad, bwe byeyingiza mu byobufuzi n’ebyenfuga bya Pakistani. Pakistani bwe lyamala okutondebwawo, Abaqadiyani nga bayambibwako Sir Zafarullah Khan, bayingizibwa bangi nnyo mu mirimu gya Gavumenti, mu maggye ne mu bifo ebyobuvunaanyizibwa ebyenjawulo bingi ddala. Kino kyavaako embeera etasangikasangika naddala mu byenfuga. Emirimu n’okukuzibwa byaweebwa abo bokka Abaqadiyani oba abaasembebwanga ekibiina kya Jamaat Ahmadiyya. Abo abataafunanga kusembebwa oba abaakirabanga nga kikyamu, baasigala tebalina mirimu oba tebaakuzibwanga ku mirimu. Kino ky’ekiseera bwe waatandikibwawo omugendo gw’okulwanyisa Abaqadiyani mu Pakistani mu 1953. Alipoota yayongerako nti, eno y’emu ku nsonga lwaki embeera emanyiddwa nga Tehreek-e-Khantme Nabuwwat, eyavaako okukakkana mu byenfuna mu Ggwanga lyonna- naddala mu Punjab, yabaawo.

Ku bya Mirza Tahir Ahmad, alipoota yagamba nti, ku lw’omusajja ono ekibiina kya Jamaat Ahmadiyya kyatandika okwenyigira ennyo  mu byobufuzi - yadde ng’emabegako kyali kyebala okubeera ekinafu mu kisaawe kino. Zullfiqar Ali Bhutto bwe yatandikawo ekibiina ki Peoples Party, Mirza Tahir Ahmad yali wa ku lusegere nnyo ku ye. Mu biseera bino, Mirza Nasir Ahmad y’eyali omukulembeze wa Ahmadiyya Jamaat. Naye, yali muntu munafu ate nga wa nsonyi.Yali tayagala kulaba nti, Jamaat Ahmadiyya kitandikawo abalabe nga kyeyingiza mu byobufuzi. Naye, Amiiri wa Jamaat- Mirza Tahir Ahmad, yatandika okuvuga ensonga z’ekibiina ki Peoples Party. Okuva olwo,  kyatandika okumanyika nti, omuvubuka ono embula kalevu- Mirza Tahir yali mugezigezi, nnalukalala ayagala ennyo okukozesa ebissi. Ne mu biseera bya Mirza Nasir Ahmad, Mirza Tahir yatandikawo ekiwayi ky’ebyobufuzi mu Jamaat ekyafuuka eky’amaanyi ennyo ekyatuusa ne Amiir wa Jamaat okufuuka kimbuyege. Mirza Tahir yafuuka nnyowa kulusegere ne  Bhutto era Bhutto bwe yatwala obukulebeze bwa Gavumenti ekifo kya Tahir kyakuzibwa n’afuuka omuwabuzi w’ebyobufuzi ow’oku ntikko- kumpi, naye nga mukulembeze. Kati Obuqadiyani ne bufuuka bwa maanyi. Emabegako mu  1965, omusajja ono nga ayita mu Bhutto yakola olukwe  okusaanyawo eggwanga lya Pakistan bwe yatandikawo olutalo ne Buyindi. Ekiseera ekyo, ekigendererwa kyabwe kyali kya kutondawo Gwanga eryeyawudde- nga kino kye kyali ekirooto kyabwe eyo mu emyaka gya 40. Mu kiseera kino, be bamu abatandise kwenyigira ennyo mu Gavumenti. Kino kyaleeta obwelarikirivu- si mu bibiina byabufuzi ebyagala ensi yabwe- ebirina emirandira gy’eddiini byoka ; naye, n’ekiwayi kyennyini kyatandika okufuna ebyokulwanyisa; era, abakessi b’amaggye baatandika okola alipooota ekwata ku bikolwa byabwe ne bakola n’olukalala lw’amannya g’abantu abali mu bifo ebikulu ennnyo. Oluvannnyuma, abantu beegugunga ne bawaliriza Bhutto okulangirira nti, Abaqadiyani si Basiraamu. Olwo, abantu abaali bafunye emirimu mu bifo by’obuvunaanyizibwa ennyo baawaŋŋangukira ku mawanga, abalala ne balekulira okuva mu maggye ne mu bitongole ebirala; era, n’abandi abaaali bavudde mu Busiraamu- ku lw’omusimbi ogwali gubaweereddwa, baakomawo mu busiraamu.

Ekyokulabirako ekimanyiddwa ennyo, ky’ekyo kya Jhelum- ng’ono, mutabani we Raja Manawwar, yalangirira nti Musiraamu. Baganda be: Raja Mansoor ne Raja Basit baali mu maggye ; ate, owookusatu, Raja Ghalib ye yali akulira Ebyenjigiriza e Punjab. Ebyokulabirako – ngakino, ko n’ebirala bituleetera okugamba nti, singa Bamasheikh b’Obusiraamu bakola eky’amagezi era eky’obwenkanya- mu mutima omumalirivu, bakwata bulungi ensonga eno nga n’emikutu gy’empuliziganya egya Gavumenti bwe gibakwatirako, tewali nsonga lwaki enkumi n’enkumi z’Abaqadiyani tebandikomyewo mu Busiraamu.

Abasinga mu bo, bambi tebamanyi bigendererwa bya kidiini kino yadde okumanya ebikolwa byabwe.

Amagezi agaweebwa, gali nti, singa batuukirirwa mu mukwano, obukakkamu n’obwesimbu twali nsonga lwaki tewafunikwawo buwanguzi-kubanga, bangi mu bo, bakyanoonya mazima ate nga baagazi ba nsi yaabwe. Naye tewali maanyi gaeteereddwa mu ku batuukirira bulungi.

Kiteekwa kyetegerezebwe nti, oluvannyuma lw’ebizibu ebyagwa mu buvanjuba bwa  Pakistani, amawulire agaakuŋŋaanyizibwa ebitongole ebikessi nga gakwata ku kiwayi ky’ebyobufuzi ekya Jamaat Ahmadiyya gayongera okulaga nti, ekidiini kino kyettanira nnyo okutondawo eggwanga eriyitibwa Qadian oba erinnya eddala erinaatambuzibwa ku nkola ng’ey’e Vatican. Era, kyamanyika nti, Buyindi ezze ebawagira okutuukiriza kino era n’ebakakasa nti, mu kulafuubana kwabwe n’okuteekateeka, bwe banaawangula ne bafuna ensalo ezeyawudde ez’ebitundu by’e Sialkot ne Shakergarh, olwo Kashmir ko ne Qadian wamu n’ebitundu ebiriraanyewo, bigenda kubaweebwa batandike okwefuga oba n’okufuna obwetwaze. Alipoota eyongera n’egamba nti, mu myaka gy’e 70 n’e 80, Abaqadiyani baayambagananga n’Abasiiya n’Abayisimayiriya- nga bwe baakolanga ku bakristaayo naye ne balemwa.

Kati, nga bayita mu kibiina ki Asma Jahangir n’ekibifaana –mbu ebirwanirizi by’eddebe, byagezaako okuvumaganyisa Pakistani mbu etyoboola eddembe ly’obuntu. Zafar Chawdhery (kizibwe wa Sir Zafarullah Khan Qadiani) ye yali emabega w’ebikolwa bino. Mu kiseera kyekimu, ebikolwa by’obutujju byatandikibwa mu Pakistan era abamu ku Baqadiyani n’Abakristaayo battibwa- olwo kirangirirwe nti, ku lw’etteeka ly’okutyoboola eddiini, Pakistan egugumbulwe mu nsi yonna.

Nga bawa ebyokulabirako, kyakakasibwa nti, abantu bano benyigidde nnyo mu butemu obuzze bukolebwa mu myezi egiyise mu butabanguko abwazuuukawo nga bakola ssemateeka amateeka n’ebiragiro. Okubasobozesa okutandikawo obuvuyo buno, baasasanya US$330.000.000/-  era okugabanya n’enkozesa y’omudidi gw’ensimbi zino byayisibwanga mu bo. Ekigendererwa ekikulu eky’okutandikawo akatuubagiro kano, kyali kya kusaanyawo omusingi okutambulizibwa eggwanga lino. Olwo, mu kifo ky’okulitambliza ku musingi gw’Obusiraamu, libeere eritambizibwa ku nkola y’ekikaafiir. Mu mbeera efaanana bw’eti, okwenyigira mu nsonga z’ensi yonna n’ebyokwerinda bikosebwe.

Okutuukiriza kino, bino wammanga biteekwa okkolwa:

Ekisooka, kwe kugezaako okuggyawo ssemateeka wa 1973. Singa ssemateeka taggyibwawo, wakiri akwaayiro konna ak’omunaaana ak’ennoongosereza kasazibwemu. Olwo, bagezeeko okugoba ennoongosereza eyookubiri (egamba nti, Abaqadiyani si Basiraamu.) Ku lw’ensonga eno, bagezeeko okuyingiza abakulembeze Abakaafiir mu Byobufuzi ne mu maggye era babawanguzise. Kino nakyo, kyali kimu, ku bigendererwa by’obutabanguko obuliwo ensangi zino.

Omuntu ng’erinnya lye lyalondebwa ku kifo ekisava- mu nkola oy’obusigire, okumala emyaka ebiri, ateekwa kubeera- mu bigambo bye, ebikolwa n’embeera ze nga teyeesigama ku ddiini.

 Ekibuuzo kyabuuuzibwa  oba,  kisoboka  ku muntu oyo, omukendeevu- si mu bya mwoyo byokka, wabula nga n’empisa ze nsiwuufu, ssemateeka okubawa  ebifo by’obuvunaanyizibwa- naddala mu byobulamuzi, mu Ggwanga nga Pakistani?

Alipooota yeeyongera okuteegeeza nti, kino tekisaanidde ku buusibwa maaso nti-mu ngeri emu oba endala, Abaqadiyani basangibwa mu buli kavuyo akali mu Ggwanga lino era ne mu kiseera kino bakyakoola nnyo. Ebigambo bya Mirza Tahir ebyasembayo nabyo bikakasa kino.

Alipoota yagamba nti, ka Buyindi ebawe obuvanjuba bw’ekibuga  Punjab ekya Qadian, ebifo ebirilanyewo ne Kashmir oba nedda, bo bajja kugenda mu maaso ne kaweefube waabwe okutondawo eggwanga eryefaananyiriza n’enkola y’e Vatican.  Tewaliwo nkyukakyuka ku ekyo kyebasibiddeko n’ebigendererwa byabwe ku nsonga eno era ku kyo balina n’owagizi obuggumivu ggulugulu okuva mu Buyindi, Isirayiri n’amawanga g’Abakrisitaayo.

Alipoota yawa ebirowoozo bino wammanga ebinaakitangira :

1. Okukyala kwa Mirza Tahir mu Buyindi; n’ensisinkano ze mu Bungererza n’abakulembe ba Buyindi, biteekwa okugobeererwa n’enkaliriza. Enkolagana n’ebikolwa by’abakulembeze b’ekibiina ki Peoples Party biteekwa okulondoolwa. Mu bano, mulimu Khalid Kharral (eyamala emyaka 2 mu Buyindi) Aitizaz Ahsan, Aftab Ahmed Sherpao ne Naheed Khan. Okutunuulira enkaliriza kuteekwa okukolebwa ennyo ku Baqadiyani abaweebwa obubudamu mu Bungereza ko ne mu mawanga amalala aga Bulaya (Amerika era kati n’ebuvanjuba obusooka [Far East] ); era, ensonga eno esaanidde okubuulirwa ebitebe by’amawanga mu bwegendereza n’obukwatampola ku mitendera gyonna. Emirimu gy’ebitongole ebyeyita ebikola ebirwanirizi by’eddembe, abkozi ababikolamu n’abayima baabyo nga Zafar Chaudhry bateekwa okutunuulirwa n’enkaliriza- naddala, ebyensubulaganya byabwe, biteekwa okulondoolwa ennyo ate entakira. Emirimu gy’Abaqadiyani n’Abakristaayo  mu Sialkot, Shakergarah n’ensalo  eziriranye ebitundu ebyo, biteekwa okutunuurirwa n’enkaliriza. Mu bifo bino, abavubuka embulakalevu, mwebayitira okugenda n’okuva mu Buyindi okufuna okutendekebwa mu byobutujju. Amakubo gano gasaanidde okuggalwa; era, ebikolwa by’abeŋŋanda zaabwe, abawa obukuumi n’okukweka abatujju biteekwa okulondoolwan’okuggalwa. Mu biseera ebyo, ng’ebikolwa by’obutujju byeyongera mu bifo eby’enjawulo mu Ggwanga, entambula z’abatujju abo mu bifo bino nazo zeyongerae. Oluvannyuma lw’okukola ebikolobero, abatujju bano badduka nga bayitira mu makubo gano ne beekukuma mu mawanga agaliranyewo. Singa ebifo bino bitunuulirwa n’enkaliriza mu biseera nga bino (eby’obutabanguko), abatujju bano basoboka okukwatibwa amangu. After committing the crime, terrorists escape to the neighboring country through these routes. Okukwatibwa kwabwe nga kuno kusobola okuvumbula ebyewunyisa ku bikolwa by’abatujju n’ababawagira. (bino bituweerezeddwa ab’olupapula lw’Amawulire olw’olulimi Olurdu {Courtesy of Takbeer International Urdu Weekly})
اضيف بواسطة :   admin       رتبته (   الادارة )
التقييم: 0 /5 ( 0 صوت )

تاريخ الاضافة: 26-11-2009

الزوار: 2281


جديد قسم مـقـالات الموقـــع
القائمة الرئيسية
البحث
البحث في
القائمة البريدية

اشتراك

الغاء الاشتراك