Bismillahi al-rahm.aan al-rahiim.
LUGANDA.
EKIBIINA EKIRAFUUBANA OKULABULA N’OKULAGA ABASIRAAMU
OBULABE OBUVA MU NJIGIRIZA Y’OBU AHMADIYYA.
Anti Ahmadiyya Movement in Islam- An Awareness Campaign.
Ani asinga okubeera omulyazaamaanyi,okusinga oyo,agunjaawo obulimba ku Allah oba n’agamba ntiakkiddwako obubaka okuva ewa Allh, so nga nedda-Al-Qur’aan.
OKUMANYA, OBUZUUZI N’OBULIMBA BWA MIRZA.
Fabrications, Lies and Deceptions
bya Dr. Rashid
Omulimba, ateekwa kubeera ng’ajjukira nnyo.
Montaigne yagamba nti, okubeera omulimba omulungi, oteekwa kujjukira nnyo. Omulimba,kafulu, ateekwa okwekuuma obutakotanya byonna byazze alimba. Mulimu simwangu.
“Tewali muntu alina bwongo bumubeeza kafulu mu kulimba
-Abraham Lincon.
Ab’emikwano,
Mirza Ghulam Ahmad Qadian,omutandisi w’ekibiina ky’Obuhamadiyya,yeeyita nabbi wa Allah,Masiih eyalaganyisibwa era Mahdi, byonna n’ebirala nga biri muye omu.Y agamba nti,yafunanga obubaka (WAHY) era mbu Allahyamuyigiriza buli kintu awatali kusomesebwa muntu yenna.
Yagamba:
“Nga bwe nzikiririza mu Qur’aan entukuvu, era bwentyo ,awatali kubuuusabuuusa bwe nzikiririza mu ebyo ebyajja gyendi… Era, nsobola n’okuyimirira ku ka’aba entukuvu, ne ndyira nga nkakasa nti, obubaka outukuvu obwo bwe nafuna, ddala, bubaka bwava wa Allah, oyo eyatuma Muusa, Isa ne Hazrat Muhammad(S.A.W.).”
(Bino bikoppeddwa okuva mu bitabo by’Abakadiyaan ebiyitibwa Aik Ghaltee kaa Izala ku muko ogwa 6(page 6), ne Roohani Khazain, omuzingo ogwe 18, ku muko ogwe 210(page210)).
“Ndayira mu linnya lya Allah nti,nzikiririza mu bubaka buno nga bwe nzikiririza mu Qur’aan n’ebitabo ebirala ebya Allah; era, nga bwe zikiririza mu Qur’aan nti tewali kubuusabuusa kigambo kya Allah era tewali na kubuusabuuusa bwe nzikiriza nti obubaka obukka ku nze nabyo bigambo bya ALLAH.”
(Bino bikoppeddwa okuva mu bitabo by’Abakadiyaani ebiyitibwa.Haqeeqatul Wahy ku muko ogw’e 211(page 211) ne Roohani Khazain omuzingo ogwa 22, ku muko ogw’e 220(page 220)).
Bwetutyo nno naffe tubeera batuufu okukitwala nti, buli kyonna MIRZA GHULAM kye yayogera ne bye yawandiika mu bitabo bye, ye n’abagoberezi be babikkiriza nti, byamazima. N’olyekyo tewali kubuuusabuusa nti tebisuubirwa kusangibwamu burimba; yadde ensobi oba obuzuuzi.Mirza yagamba nti.
“Tewali kubuusabuusa, Alla tayinza kunkozesa nsobi, ka kibeere mu lutemya lwa liiso; era,ankingiriza obutakola nsobi ko n’okunkuuma obutagwa mu mitego gya shaitwani.”
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky’Abaqadiyaani ,ku muko ogusembayo mu kitabo,Nur Haq, Rooohani Khazain, omuzingingo ogw’o 8ku muko ogw’e 372.)
“'Kullama qulto qulto min amrahoo, wa maa fa'alto un amree, wa maa aftaraito 'alaa Rabbi al'Alaa' –
“Buli kyonna kye njogedde, kyogedde lwa kiragiro kye (Allah)era sirina kye njogera nga njiggya ku ndowoooza yange oba okubaako kye nzuula nga nkiyita nti kivudde wa mulezi wange.”
(Bino bikoppeddwa okuva mu bitabo by’Abaqadiyaani ebiyitibwa, Mawahibur Rehman p 3, Roohani Khazain vol.19 p.221.)
“ ‘wa maa unteqo unil hawa in howa illa wahun yooha' –
Talina kyayogera ng’akyogera kululwe, wabula , kyonna kye muwulira bubeera bubaka.
(Bino bikoppeddwa okuva mu bitabo by’Abaqadiyaani ebiyitibwa Arba'een No. 3, Roohani Khazain vol.17, p. 426-427.)
Ebigambo bya Mirza Ghulam Ahmad Qadiani bino, birambulukufu. Buli kyonna kye yakola oba kye yayogera; nabuli kyonna kye yawandiika mu bitabo byonna 83 n’okusobamu; emizingo e 10 egya Mafoozat ko n’ebyo ebyakuηanyizibwa mu bubaka obwatuumwa, Tadhikirah ne mu mizingo e 3 ebisangibwa mu Collection of Advertisement, mbu byonna bwali bubaka obwava obutereevu ewa Allah, okusinziira ku ye. Nkakasa nti ABAHMADIYYA/ABAQADIYAANI/ABALAHORI bonna bakiriziganya nange ku kino.
Kati,bwe wabeerayo ensobi yonna mu bitabo bino oba mu bulimba buno, ani avunaanyizibwa kubwo??? Kisoboka okugamba nti, nabyo byava wa Allah (Ma’azAllah)? Okujako, nga katondawe, buteleevu yalimba- amuswaze mu maaso g’abalabe be. Okuva Allah bwatasobola kukola nsobi oba kwogera kikyamu, wateekwa kubaawo nsonga ndala era nga kisoboka okubeera nti ensibuko y’obubaka obwo n’okubikkurirwa okwo byonna byava wa SHAITWAN, ne biretebwa eri MIRZA GHULAM ne ‘bamalayika be’ ba Eil, Tichee Tichee ne Kharaatee. Ebyo ka mbirekere abasomi, mmwe mubeera musalawo.
Wammanga, kambalage ebyokulabirako ekukunavu, ebyobuzuuzi, oby’okukyusakyusa ebituufu ko n’obulimba obwenkukunala. Naye, ng’ekyo sinnakikkola, musooke musome biki Mirza by’ayogera ku muntu alimba.
Yagamba:
“Obulimba, kyenkanankana nokuva mu Busiraamu.”
(Bino bikoppeddwa okuva mu bitabo by’Abaqadiyaani, ebiyitibwa: Arba'een No.3ku muko ogwa 24 mu kawaayiro wansi (page 24 footnote) , ne Roohani Khazain omuzingo ogwa 56 ne 407(pages: 56,406))
“Singa omuntu akakasibwako obulimba, yadde mu kintu kimu, olwo abeera takyesigika ne mubintu ebirala”
(Bino bikoppeddwa okuva mu bitabo by’Abaqadiyaani ebiyitibwa: Chasha-e-Ma’arifat, ku muko ogwa 222 ne Roohani Khazain omuzingo ogwa 23, ku muko ogw’e 231(vo.23, page 231))
Mirza Ghulam atugamba mu bitabo bye nti, waliwo okubikkulirwa kwa mirundi ebiri:
1. Okubikkulirwa okuva ewa Allah (Ilhaam Rahmaani ) ne
2. Okubikkulirwa okuva ewa Shaitwani (Ilhaam Shaitwani)
Okubikkulirwa (obubaka) okuva ewa Allah bulijjo kubeera kutuuufu.Okubukkulirwa kwa Shaitwani, ebiseera ebisinga, kubeera kukyamu; naye, kuyinza oluusi okufaanana ng’okutuufu, singa Katonda ayagala okukutuusaako ekibonerezo ekinene. N’okubikkulirwa/obubaka Mirza bye yafunanga tusaana tubitunuulire mu mbeera eno.
OLUKALALA LW’OBULIMBA No.1
Bya
Dr. Rashid
Ka ntandike olukalala luno, nga nnokolayo ebyokulabirako okuva mu biwandiiko bya Mirza Ghulam ebyayogerwa ku bimu kw’ebyo, kyokka ng’ebyafaayo ebimanyiddwa obulungi era nga bikakasibwa abawandiisi b’ebyafaayo abetengeredde, bo balaga kirala. Tewali na bwetaavu bwa kubitaputa; era, tewali na kunnyonyola kwetagisa kubyo; kubaga byeyogerera byokka.
“Abawandiisi byebyafaayo bakimanyi bulungi nti, munju ya Nabbi (S.A.W.) mwazaalwa abaana abalenzi 11; era, bonna baafa …”
(Bino bikoppeddwa okuva mu bitabo by’Abaqadiyaani ebiyitibwa: Chashma-e-Ma’arifat, ku muko ogw’e 286(page 286) ne Roohani Khazain omuzingo ogwa 23, ku muko ogw’e 299)
“Mulaba, nti munju ya Nabbi wa Allah (S.A.W.) mwazaalibwamu abaana abawala 12. Teyatubuulira lwaki, abaana b’obulenzi tebaazalirwamu.”
(Bino bikoppeddwa okuva mu kitabo ky’Abaqadiyaani ekiyitibwa: Malfoozaat, omuzingo ogwa 23, ku muko ogw’e 57(Vol.23, page 57).)
“Nabbi (S.A.W.) teyafuna na mukisa kuyigirizibwa lulimi lwe luzaaliranwa okuva ku bazadde be; kubanga, bwe yaweza emyezi mukaaga, bombi baali bafudde.”
(Bino bikoppeddwa okuva mu bitabo by’Abaqadiyaani ebiyitibwa: Ayam-us-Sulh, ku muko ogw’e 150 ne Roohani Khazain, omuzingo ow’e 14, mu kawaayiro akali wansi w’omuko ogw’e 396(Vol.14,page 396 footnote.))
Ab’emikwano abasomi baffe,
Mubikkule ekitabo kyonna eky’ebyafaayo by’obulamu bwa Nabbi (S.A.W.). Mujja kukisanga nti, yazaala abaana bana abalenzi n’abaana bana abawala. Teri kitabo nakimu kyogera nti, Nabbi (S.A.W.) yazaala abaana abawala 12 n’abaana abalenzi 11. Taata wa Nabbi (S.A.W.) yafa nga Nabbi (S.A.W.) tannazalibwa; ne nnyina yafa ng’awezezza emyaka mukaaga.
Mirza by’ayogera yabiggya wa? Kati, ate soma bino:
“Buli kyonna kye njogedde, nkyogedde lwa kiragiro kye (Allah) era tewali kyenkoze nga nkiggya ku kwagala kwange; era, sirina kyonna kye nzudde ku mulezi wange.”
(Bino bikoppeddwa okuva mubitabo by’Abaqadiyaani ebiyitibwa: Mawahibur Rahmaani, ku muko ogw’oku 3, ne Roohani Khazain, omuzingo ogw’e 19 ku muko ogw’e 221.)
N’olwekyo, yali katonda ki ono, yawa amawulire amafu bwe gati-agaswaza ‘nabbi’ we bwe gati?? Ddala, tekisoboka kubeera nti, obubaka buno bwava wa Shaitwani? Oba, tekiyinzika kubeera nti, Mirza yali awunze? Naye, Mirza ye yeewana nti, Allah tasobola kumuleka kugwa mu nsobi, yadde olutemya lw’eriso.
Yagamba nti,
“Tewali kubuusabuusa, Katonda tasobola kundeka mu nsobi, yadde olutemya lw’eriso lyange; era, ankingiriza ku buli nsobi n’emitego gya Shaitwani.”
(Bino bikoppeddwa okuva mu bitabo by’Abaqadiyaani ebiyitibwa: Nur ul Haq, ku muko ogusembayo ne Roohani Khazain, omuzingo ogw’o 8 ku muko ogw’e 372.)
Buli yali ensibuko y’okubikkulirwa kuno; era, na buli yali emabega w’okubikkulirwa kuno, ekintu kir kimu ekikakafu ku byo: Okubikkulirwa kuno tekwava wa Allah; mumazima kwali kwa Shaitwani. Bukakafu k, bwe batuwa nti, n’ebirala tebyava ku nsibuko y’emu?
Nyaniriza Abahamadiyya, ku nsonga eno, bagifumiitirizeeko.
Wassalam
Dr. Syed Rashid Ali
rasyed@emirates.net.ae
http://alhafeez.org/rashid/